Omulangira Edward Rukidi Kijjanangoma atuuziddwa ku ngoma ya Tooro olwa leero nga 29 September,2026 mu lubiri lwe Karuzika Fortportal, naafuka Omukama wa Tooro ow'e 13, era kati ayitibwa Omukama Rukidi Nyabongo .

Omukama Nyabongo azze mu bigere by'Omukama Oyo Nyimba Rukidi IV eyafa nga 27 August,2026.

Omukama Nyabongo mutabani w'omugenzi Omulangira Christopher Paul Kijjanangoma.

Nga tanalondebwa kufuuka Omukama Nyabongo, abadde munnamawulire ku TV y'eggwanga era UBC.

Mukyala w'Omukama Nyabongo , Omugo Rebecca Omodingi y'abadde akulira abakozi mu kitongole kya VIVO Energy Uganda.

Akakiiko ak'abantu 21 nga kakulemberwamu Omusuuga Charles Kamurasi kaalonda Omulangira Edward Rukidi Kijjanangoma okufuuka Omukama omujja owa Tooro, nga 9 September,2026, ate Omukama Oyo naazikibwa nga 12 September,2026.