Akakiiko ka district ye Mpigi ak'ebyettaka kayisizza ekiteeso ekyokusazaamu ebyapa byonna ebyali byassibwa ku ttaka eribadde liyibwaako kasasiro e Buyala, oluvannyuma lwa President Yoweri Kaguta Museveni okuyimiriza KCCA obutaddamu kuyiwa kasasiro mu kitundu ekyo.
KCCA yali yagula ettaka eriweza yiika 230 okuyiwako kasasiro e Buyala, wabula oluvannyuma lw'okunoonyereza kyazuulwa nti ettaka lino lyali lyagulibwa mu bukyamu, nti kubanga liri ku kibira kya government ki Buvuma forest Central Reserve.
Okunoonyereza era kulaga nti ettaka lino government yalitaliza nga lya kibira mu 1945.
Wabula kigambibwa nti 2015, abaali bakulira akakiiko k'ettaka e Mpigi baatuuzaako ebyapa bisatu nebiweebwa abantu kinnoomu.
Abantu abasatu abaweebwa ebyapa ku ttaka lino nti nabo baalitunda nrbaliguza omuntu omu mu 2025, wabula omuntu oyo naye ettaka mu mwaka gwe gumu naaliguza KCCA okuyiwako kasasasiro akunganyizibwa mu Kampala n'emiriraano.
Ssentebe w'akakiiko k'ebyettaka e Mpigi aliko mu kiseera kino Tomusange Charles Ssebuggwawo agambye nti baawandiikidde Commissioner akulira eby'okuwandiisa ebyapa mu ministry y'ettaka ku bikwata ku ttaka eryo erye Buyala.
Mu July 2024 kasasiro eyali amaze emyaka egisoba mu 20 ng'ayiibwa mu e Kiteezi Kasangati mu Wakiso yabuumbulukuka naakulukuta, naaziika amayumba g'abantu, era abantu abasoba mu 30 nebafiiramu.
KCCA.yasalawo okugula ettaka mu kitundu ekirala okuyiwayo Kasasiro, neefuna e Buyala yiika 230, wabula president Musenevi yabayimirizza, nti kasasiro ono wabulabe, singa alinaana ekifo ewatongozeddwa okuzimba etterekero ly'amafuta ku kyalo Namwabula mu mukuka gwe Nsujjumpolwe mu gombolola ye Kiringente mu district ye Mpigi.
Etterekero lino lisuubirwa okutereka amafuta agaweza liita obukadde 320, era lyerigenda okuba nga lyerisiinga obunene mu Uganda.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment