Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, awabudde abakulembeze mu kkanisa ya Uganda, okukoma okwetuulako, n’okulinda abakiriza okujja mu kkanisa babasumbe.

Ssabalabirizi Kaziimba Mugalu, okwogera bino abadde akulembeddemu okubuulira mu kusinza okubadde mu bulabirizi bwe Lango ku lutikko esangibwa e Boroboro mu district ye Lira.


Abadde agenze kusiibula abakulisitaayo be Lango, nga yeetegekera okuwummula omwaka ogujja 2027 mu mwezi gwa August.



Abakuutidde obutalindira bakkiriza mu kkanisa mwokka,wabula babalumbe ne mu byalo gyebali.


Ssabalabirizi Kaziimba agambye nti ekkanisa okusimba amakanda n’okunywera obulungi, kisaana neefuluma neegendako mu bantu kuba ebibasoomooza n'okubalemesa okujja mu masinzizo bingi.


Ssabalabirizi Kaziimba Mugalu, era atenderezza enkulakulana esangiddwa mu bulabirizi bwe Lango, gyagambye nti eyambyeko kunkulakulana y'eggwanga naasaba abavubuka okwongera okujjumbira obuweereza ku mitendera egy'enjawulo.


Bisakiddwa: Ddungu Davis