Abantu ba Ssaabasajja Kabaka Abakenyi bakiise embuga, era nga  baliko ensonga zabwe zebaanjuddeyo, era nebasaba Obwakabaka bubakkirize babeera nga batambulira mu nteekateeka zaabwo.


Abakenyi baava mu Buganda nebaseenga mu bitundu byÓbuvanjuba bwa Uganda, nga baali badduka ntalo ezaaliwo wakati wa Ssekabaka Ssemakookiro ne Junju.


Emyaka 250 n'omusobyo egyali egy'entalo z'okulya Engoma mu Bwakabaka bwa Buganda,gyaviirako abantu abamu okwabulira Obwakabaka nebawangangukira mu buvanjuba bwa Uganda, obugwanjuba ate abalala nebafuluma Uganda.


Bayitibwa  Abakenyi mu bitundu gyebabeera, nti kubanga baali Bagenyi bugenyi gyebaali balaze, wabula nebagulayo ebibanja nebasigalirayo ddala.

Nga bayita mu kiwandiiko ekiwandiikiddwa abakadde okuva mu Bakenyi Elders council era nga kisomeddwa Ssalongo Kiriggwajjo Peter, basinzidde mu Bulange e Mengo nebategeeza nti gyebaawangangukira baliko bingi byebaafiirwa, nga baagala badde ku butaka babizzeewo.


Eyaliko minister Omubeezi owÉbyobwegassi mu Buganda, nga kati yawummula Owek Wilson Nsamba Kumama, era nga yaliko n'omubaka wa parliament ow'e Bbaale mu kisanja ekya 2016-2021, ategeezezza nti Abakenyi bakuumye nnyo Obuwangwa nÉnnono za Buganda yonna gyebali, wabula nga kati basomoozebwa olwobutabaako wagumu webasimba kigere.


Owek.Kumama agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwebusiinga okubategeera, era nebasaba bakkirizibwe bakomewo ku butaka batuule ntende, era batambulire mu nteekateeka za Buganda.


Owek. 

Bwabadde abasisinkanye , Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bulina obuvunaanyizibwa okunoonya n'okukumaakuma bazzukulu baabwo yonna gyebali, awatali kusosolamu yadde.


Katikkiro annyonyodde nti Abakenyi okuwanganguka, nti  baali batumiddwa Ssekabaka Ssemakookiro okugenda mu lutabaalo wabula nebatalutuukiriza bulungi, nebasalawo okudduka mu Buganda okwetegula ekyali kiyiinza okuddako.


Baasenga mu bitundu ebirala okuli Busoga, Teso, Ankole, mu Zanzibar n'ewalala.



Katikkiro mu mbeera yeemu yebazizza olukiiko lwa Bakenyi Elders Council, abakoze ekyamaanyi okukuuma Obuwangwa n'ennono ya Buganda yonna gyebali.


Katikkiro abasuubizza nti Obwakabaka bwakutambula wamu nabo, singa babeera n'okwolesebwa okw'okuzza Buganda ku ntikko, era nabakubiriza okunyiikira okusoma n'okuweerera abaana.


Bisakiddwa: Kato Denis