Obwakabaka   buwabudde abaweereza b’Obwakabaka ku mitendera gyonna,   okwettanira enkola za Tekinologiya ow’omulembe   nga bakola emirimu  kibayembe okutuukiriza obulungi obuvunanyizibwa obubakwasibwa.

 

Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategezezza nti ensi yonna kakano yafuka  ya mitimbagano,  ng’ekiseera kituuse byonna ebikolebwa mu Bwakabaka okutambulirizibwa ku nkola ey’Omulembe.

 

Owek Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde mu Bulange  mu kukwasa   Abaami be Ggombolola, ebyuma bi kalimagezi ebya   Tabuleeti , nagamba  ebyuma bino byakuyambako Abaami okukuηaanya ebibalo ku byonna ebikolebwa  , naakuutira abaweereza   okuzikozesa obulungi.

 

Mungeri ey’enjawulo Owek Waggwa asabye Abaami  okukunga abantu ba Kabaka okwenyigira mu bikujjuko by’okujjukira emyaka 33 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alamula Obuganda

 

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Oweek Joseph Kawuki   asabye abaami okufaayo okuyiga enkola eza Digital era   nategeeza singa ebikwata ku bantu ba Kabaka bimanyibwa kyakuyambako okubateketekera obulungi.

 

 

Abaami abakwasiddwa tabuleeti zino beyanzizza Nnyinimu olwokubasosowaza nebeyama okuzikozesa obulungi nga bakola emirimu.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius