Olugendo lwa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ogw'ebigere eya Uganda Cranes olw'empaka ez'okusunsulamu ensi ezinakiika mu Africa Cup of Nations omwaka ogujja 2027, erutandise nakugwa maliri ne Tunisia ga goolo 1-1 mu mupiira oguzanyidwa mu kiro ekikeesezza olwaleero nga 25  September,2026.

Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Stade Rades e Tunisia.

eTunisia yesoose okuteeba mu kitundu ekisooka, olwo mu kitundu eky'okubiri Uganda Cranes nefuna goolo eyekyenkanyi mu ddakiika eye 68 eteebeddwa Rogers Mato. 

Omupiira guno Tunisia egwefuze n'ebitindu 55% ate Uganda Cranes n'ebitindu 45%.

Tunisia ekubye ebizungirizi ku goolo ya Uganda Cranes 13, nga 4 bye bibadde mu mimwa gya goolo.

 Uganda Cranes ekubye ebizungirizi 9 ku goolo ya Tunisia, nga 3 bye bibadde mu mimwa gya goolo. 

Omutendesi wa Uganda Cranes Paul Joseph Put atandisizza Dennis Masinde Onyango mu goolo, Nathan Assimwe, Azizi Kayondo, Tobby Sibick, Rogers Torach, Kenneth Ssemakula, Rogers Mato, Al Hassan Baba, Noble Okello, Travis Mutyaba ne Allan Okello. 

Kati Uganda Cranes egenda kukomawo ku butaka okwetegekera okuzannya ne Libya nga 29 September, mu kisaawe kya Hoima City Stadium. 

Mu kibinja kino H, era Libya egudde maliri ne Botswana goolo 2-2. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe