Ttiimu y'essaza Gomba ne Kyaggwe zitangaazizza emikisa gyazo egy'okugenda ku fayinolo y'empaka z'amasaza ga Buganda ez'omupiira ogw'ebigere ez'omwaka guno 2026 bweziwangudde emipiira gyazo egy'oluzannya olusooka ku mutendera gwa semi fayinolo.

Gomba ekubye Butambala goolo 2-0 mu kisaawe e Kabulasoke, nga goolo za Gomba zombi ziteebeddwa Muhammad Kasule mu kitundu ekisooka. 

Kyaggwe ekubye Bugerere goolo 1-0 eteebeddwa Ziraba Ronnie mu kisaawe kya Bishops SS e Mukono. 

Butambala egenda kuddingana ne Gomba nga 03 omwezi ogujja  ogwa October mu kisaawe kya Kibibi SS, ate Bugerere egenda kuddingana ne Kyaggwe nga 04 October e Ntenjeru. 

Fayinolo  y'amasaza ga Buganda ejja kubaawo nga 31 omwezi ogwe 10 mu kisaawe e Wankulukuku. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe