Police ekutte eyali Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka Kasega eyali omumyuka we Eng David Luyimbaazi Ssali n’eyali akulira eby’obulamu Dr Daniel Okello,bagiyambeko mu kunoonyereza kweriiko ku kasasiro w’e Kiteezi eyabumbulukuka natta abantu ku nkomerero ya July 2024.
Baasoose kuyitibwa ku kitebe kya bambega ba police e Kibuli nebakunyizibwa ku ngeri gyebabadde bakolamu emirimu gyabwe, eyaviirako
Omumyuka weyali Ssenkulu wa KCCA Eng David Luyimbazi Ssali yeyasoose okulabikako ku kitebe kino ku saawa nga taano, oluvanyuma Dr Daniel Okello ne Kisaka nabo nebatuuka.
Mu kisenge gyebakunyiziddwa tewakiriziddwayo banamawulire, sso nga ne ku mulyango oguyingira mu kitebe kino bagobeddwawo era obwedda ebigenda maaso babifunira wabweru wa kitebe kyabambega.
Abasatu bano president Museveni yabagoba ku mirimu oluvannyuma lw’okulagira Kaliisoliiso wa government okufulumya alipoota ku byaliwo nga kasasiro tannabumbuukuka, n’alagira ne ba mbega okukola ogwabwe ku nsonga eno.
Munda gyebakunyiziddwa tewakiriziddwayo banamawulire, sso nga ne ku mulyango oguyingira mu kitebe kino bagobeddwawo era obwedda ebigenda maaso babifunira wabweru wa kitebe kyabambega.
Ensonda mu kitebe kyabambega kino zitegeezeza cbs nti abavunaanibwa balemereddwa okubamatiza nebasalawo okubasigaza okwongera okubayambako mu kunoonyereza kwabwe.
Bavugiddwa okuva ku Kitebe kya bambega e Kibuli ne batwalibwa ku police ye Nateete ne Kira gyebagenda okusula ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma agambye nti nti police egenda kugira ng’ekyabakuuma okutuusa Ssabawaabi w’emisango gya government lwanaabawubula ku kiddako.