
Omulabirizi we Namirembe Moses Banja agguddewo ekkanisa ya St John’s church of Uganda Kiwaatule.
Obusumba bwe Kiwatule mu busaabadinkoni bwe Namugongo bukutuddwa okuva ku busaabadikoni bwe Gayaza, era ng’omusumba w’ibusumba buno asoose ye Rev William Wilberforce Ssekitoleko.

Rev William Wilberforce Ssekitoleko agamba nti wakutandika n’okuzimba ekkanisa mu bitundu abakulisitaayo gyebatambula engendo empaavu .

Omulabirizi Moses Banja asitudde eddoboozi mu bumenyi bw’amateeka obweyongedde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, n’akubiriza abakulisitaayo okubeera abegendereza mu kiseera kino ng’ettemu , obubbi , n’obukyayi byeyongedde.

Emikolo gyetabadiddwako abakungu okuva e Mengo ne banabyabufuzi.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo












