
Omuyimbi Grace Latoya Hamilton amanyiddwa nga Spice okuva e Jamaica akyaddeko embuga mu Bulange e Mengo, era ng’asisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ne ba minisita ba Buganda abenjawulo.
Spice yazze mu Uganda okuyimba mu kivvulu ky’Endongo ekyatuumiddwa “Let’s get Spiced up” ekigenda okubeera ku Cricket Oval e Lugogo mu Kampala nga 09 May,2026.
Kyawomeddwamu omutwe ekitongole ky’eggwanga eky’ebyobulambuzi ki Uganda Tourism Board ne Buganda Heritage and Tourism Board.
Ekivvulu kino yeemu ku nteekateeka ezikoleddwa okutumbula eby’obulambuzi bimanyike mu mawanga agenjawulo, okusikiriza abalambuzi okujja mu Uganda.
Mu nsisinkano eno Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abakulira eby’obulambuzi okuleeta omuyimbi ow’ettuttumu okwoleka Uganda eri ensi yonna kubanga alina abantu bangi naddala abavubuka abamugoberera.

Owomumbuga agambye nti eby’obulamuzi bye bimu ku bisuubirwa okuyingiza ensimbi mu ggwanga,okutondawo emirimu, n’abantu okwewummuzaamu okusitula eby’obulamu bwabwe.
Mu ngeri yeemu Katikkiro alambuludde nti abantu be Jamaica tebaawukana na bannauganda kubanga balina bingi byebafaanaganya, omuli langi, endabika n’obuwangwa.
Akinogaanyizza nti Abajamaica baasibuka mu Africa, era nga mu Jamaica baatwalibwayo ng’abaddu okukolera abazungu mu biseera by’abafuzi b’amatwale Abangereza.#











