Parliament ya Uganda eyisizza ebbago ly’etteeka erigenderera okukuuma obwetengereze bw’e ggwanga li protection of Sovereignty Bill 2026, oluvannyuma lw’okuggyamu obuwaayiro obubadde busiinze okwemulugunyizibwako bannansi.
Etteeka lino liggyiddwamu akawaayiro akabadde kanyigiriza ebitongole by’obwanakkyewa okufuna obuyambi okuva ebweru w’eggwanga, saako akawaayiro akalala akabadde kayita bannauganda abali mu mawanga amalala nga babadde bayitibwa bagwira, n’okukendeeza ku bibonerezo ebibaddemu.
Wabula waddewo okusika omuguwa mu lutuula lwa parliament, Ababaka okuva ku ludda oluwabula government, bwebabadde bawakanya eky’obutakubaganya birowoozo ku bbago eryaleetebwa government, nti libadde lirina kuyita nga bweryayanjulwa government.
Ensonga eno mu parliament etandise ne ssentebe w’akakiiko k’ebyokwerinda Wilson Kajwengye okulambika obuwaayiro bannauganda abeebuzibwaki bwebazze bemulugunyako okuli 1, 2, 15, 18, 24 ne 25.
Obuwaayiro buno mwemubadde okuyita bannauganda abawangaalira emitala wamayanja abagwira, ebbago okuba nga linyigiriza abasiga nsimbi, okugotaanya ebyenfuna nga tewali akkirizibwa kufuna sente zisukka buwumbi 400 nga taweereddwa lukusa,minister okuba nga aweebwa obuyinza okusalawo ku nsonga ezenjawulo omuli ne ensimbi zonna eziva ebweru w’eggwanga saako nebirala.
Enongosereza zino era zibadde zitaliza ebitongole n’abantu abayambako eggwanga mu byobulamu, ebyokusoma nebirala ebigwa mu kkowe eryo ku lwebyenfuna n’obulungi bw’eggwanga, era ngono ategeezezza nti singa ennongosereza zaamenye zitunulwamu ebbago lino liba teririna buzibu.
Wabula ababaka abenjawulo naddala ku ludda oluvuganya government, kino basoose kiwakanya nebakuba ebituli mu alipoota ya ababaka abangi.
Waliwo abaleese alipoota ez’abatono eziwerera ddala 6 ezaabwe, nga bakulembeddwamu Omubaka wa Erute south Jonathan Odur bategeezezza nti ebbago lino singa lifuuka etteeka bulabe bwenyini eri eggwanga.
Wabula akaseera bwekatuuse okukubaganya ebirowoozo ku bbago lino,Nampala wa government Hamson Obua ategezezza nga kino bwekiteetagisa wabula bagende ne Alipoota ya bangi batunuulire obuwaayiro kamu mu kamu, ekintu ekitabudde ababaka ku ludda oluvuganya nga bakiwakanya.
Gyebigweredde nga Speaker ataddewo okulonda bagende n’omuwendo gw’abangi, nga wano abawagira ekyokuva kawaayiro kawaayiro bebasinze obungi.
Ekiddiridde kubadde kugenda ku mutendera ogumanyiddwa nga committee stage okutunuulira obuwaayiro buno obwakolebwamu ennoongosereza, gyebigweredde nga liyisiddwa nga likoleddwamu ennoongosereza nemugyibwamu obuwaayiro obumu.
Obuwaayiro obukyusiddwa;
Mu buwaayiro obwagonzeddwa mu bbago lino, kwekuli;
-Okuggyawo okuyita bannauganda abagwira.
-Amakanisa,amasomero n’abateesobola abali mu buwandiike okusigala nga bafuna obuyambi awatali bukwakkulizo
Ebibonerezo byakendezeddwa okuva ku kusibwa emyaka 20 okudda ku 10 singa omuntu asingisibwa omusango gw’ikuyingiza sente mu ggwanga ezisoba mu bukadde 400 nga tasoose kufuna lukusa.
-Engassi ya sente nga okuva ku buwumbi 2 okudda 1 eri omuntu sekinoomu kko nengassi y’e bitongole okugibwa ku buwumbi 4 nedda ku 2 nebirala.
Embeera ebaddewo ng’etteeka liyisibwa;
-Ababaka ba NRM baakedde kutuula mu kafubo okuguna eddooboozi erya wamu ku tteeka lino.
– Ab’ebyokwerinda abawanvu n’abampi baayiiriddwa okwetoloola parliament
– Enguudo ezim ezituuka ku parliament ziggaddwa
-Parliament ebadde ekubyeko bugule okwawukanako n’amateeka agabadde gaakayisibwa gyebuvuddeko, ababaka mwebabadde bakiika nga baamuswaba.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka
https://cbsfm.ug/ebbago-lyetteeka-lya-protection-on-sovereignty-bill-2026-erigenderera-okukuuma-obwetengereze-bwa-uganda-abaweerezebwa-ensimbi-okuva-ebweru-weggwanga-bakusooka-kufuna-lukusa-okuva-mu-government












