Obwakabaka bwa Buganda mu butongole bugguddewo empaka ez’amasomero ga senior ne primary agava mu Buganda, ng’empaka zino ziyindira ku ssomero lya Kawanda SS.
Minister w’abavubuka eby’emizannyo n’ebitone Owek. Ssalongo Robert Sserwanga yagguddewo empaka zino, ng’abadde bumu n’omukulu w’essomero lya Kawanda SS Hajji Maseruka, omukungu wa Uganda Secondary Schools Sports Association Christopher Mugisha, ssentebe w’empaka zino Gerald Katamba n’abakungu abalala.
Owek Ssalongo Robert Sserwanga akinogaanyizza nti guno mukisa munene ddala abayizi gwe batekeddwa okukwata nga ekyatika, kuba Ssabassajja ayagala abavubuka okuyita mu bitone bye balina okusitula ebitone byabwe.
Mu mupiira ogw’okutongoza empaka zino, abategesi aba Kawanda SS bakubiddwa Green Light goolo 3-0.
Amasomero gavuganya mu mizannyo egyenjawulo, era empaka zino zijja kukomekerezebwa nga 15 omwezi guno ogwokusatu 2026.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe










