E Ssaza Kooki lifunye ekkakalabizo , abaami ba Kabaka mwebagenda okukolera emirimu gye.
Ekifo kino kiweereddwayo omubaka mu Lukiiko lwa Buganda, era nga ye mumyuka owookubiri ow’omukwanaganya w’eSsaza Kooki, Owek George William Kasumba Ddumba.
Awaddeyo ekifo kino kigire nga kikolerwamu emirimu gy’Obwakabaka, okutuusa nga government eyawakati eddizza Obwakabaka ebintu byayo byebukyabanja omuli n’embuga ye Ssaza Kooki.
Omukwanaganya we Ssaza Kooki Muky. Gertrude Ssebuggwawo, agamba nti Kooki bakozesa eηηombo eyokukozesa ebikolwa ssi bigambo era tebakaaba bisomoozo wabula babyegonjooler, era nti kye kibayambye okufuna e kakkalabizo lino.
Bw’abadde aggulawo yafeesi zino ezisangibwa e Lumbugu, Minister wa government ez’Ebitundu n’ensonga z’ebweru wa Buganda n’okulambula kwa Kabaka, Oweek Joseph Kawuki yebazizza Owek George William Kasumba Ddumba, olw’okwolesa omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Owek.Kawuki awadde eky’okulabirako, nti Ssaabataka bweyali yakadda munsiye, waliwo basajjabe abaamuwa yafeesi atuulemu, naye kati ali mu mbiri ze alamula obuganda.
Abasabye baleme kukyamuukirira olwabo aboogera ebingi kyokka nga tebalina muwendo gwebongera ku mugendo.
Asabye Abaami ba Kabaka beyambise woofiisi zino okuddukanyizaamu emirimu gyabwe batuuse obuweereza eri abantu ba Kabaka.