Nnaabagereka Sylivia Nagginda asabye abakyala okwongera okuvuganya ku bifo by’obukulembeze beyongere okuganyula eggwanga.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda abadde ku Golf Course Hotel mu Kampala, mu lukungaana lw’Abakyala abegattira mu bibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala “Annual Women Human Rights Defender’s conference”.
Lubadde ku mulamwa ogugamba nti “Ssiga mu Mukyala, okulaakulane”.

Nnaabagereka agambye nti abakyala balina obwongo n’amagezi ag’enkulaakulana era singa amagezi ago bagateeka mu bifo byobukulembeze eggwanga lisobolera ddala okugenda mu maaso.

Akubidde bannabyabufuzi omulanga n’abantu ssekinoomu okusiga mu bakyala mu ngeri ez’enjawulo naddala mu byenjigiriza, eby’enfuna, eby’enkulaakulana, n’okufuba okulaba nga teri mukazi alekeddwa mabega mu nteekateeka ez’ensonga enkulu era ensi.#












