Eklezia Katulika mu Uganda mu masaza ataano ag’omu Buganda okuli Ekkulu erya Kampala, Kiyinda Mityana, Kasana Luweero, Lugazi ne Masaka bakuzizza emyaka 60 kasookedde Abajulizi Abatuukirivu ba Uganda balangirirwa mu lubu lw’Abatuukirivu.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere y’akulembedde ekitambiro kya Mmisa ng’ayambibwako Abeepisikoopi abalala ab’amasaza ago, ku kiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo.
Abajulizi ba Uganda abasinga baali Baganda era wano eddiini y’Obukatuliki weyatuukira n’eryoka ebunyisibwa Uganda yonna.

Abaajulizi ba Uganda battibwa ku mirembe Emyanga.
Ppaapa Paul VI ye yabalangirirwa mu lubu lw’Abatuukirivu nga 18 October 1964 mu St. Peters Basillica mu Rome.

Mu kuyigiriza Ssaabasumba Ssemoogerere alaze ensonga ezeetaaga okussibwako essira olwo banna Uganda batambulire mu kkubo eggolokofu ery’obutuukirivu.

Abasabye okunywerera ku ddiini n’okugoberera obuwuufu bw’Abajulizi abaalaga obuzira n’ebatuuka n’okufa olw’okukkiriza, n’asaba abakkristu okwenyumiriza mu kkula Abajulizi lyebaaleetera Eklezia n’ensi yafe Uganda.
Anokoddeyo Obuseegu obukudde ejjembe omuli obwamalaaya (Neeko), ebisiyaga, okulaba obutambi obw’obuseegu naddala mu bavubuka n’asaba abakkiriza okubyekutulako kubanga bittattana obulamu bwabwe obw’omwoyo.
Ssaabasumba Ssemogerere awanjagidde b’ekikwatako naddala abakulembeze okubaako ne kyebakola okulwanyisa obulyake n’enguzi ebikudde ejjembe mu ggwanga byagambye nti ye kookolo alya ensi yaffe mu kimomozo!

Agambye nti ensangi zino wazzeewo omuze gw’abantu abatayagala kukola olwo nebatunuulira eby’abalala ekivuddemu obubbi okwegiriisa.
Wabula yeebazizza abeewaddeyo okubaako kyebakola ekikyusa obulamu naddala abawulidde ekiragiro kya Ssaabasajja n’eddoboozi lya Katikkiro Charles Peter Mayiga ku nsonga y’ekirime ky’emmwanyi.
“Ebigambo bireme kubaggya ku mmwanyi, omweyogereze takusuuza kayanzi ko, Abeeyogereze ebigambo bijja kubaggwako, mulime emmwanyi…” Ssaabasumba Ssemogerere

Emmisa eno yeetabyemu Abeepisikoopi okubadde Omubaka wa Ppaapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja, Rt. Rev Dr. Joseph Anthony Zziwa, Rt. Rev Lawrence Mukasa owa Kasana Luweero, n’abasaaserdooti abalalal bangi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K










