Abantu baweze 31 abaakafa, abaayokebwa omuliro ogwava ku mmotoka y’amafuta eyagwa e Kigoogwa, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Okusinziira ku alipoota ya police, abasajja abafudde bali 22 n’abakazi 09.
Omuliro guno gwava ku mmotoka y’amafuta eyalemerera omugoba waayo negwa e Kigoogwa amafuta negatandika okuyiika, olwo abantu nebakungaana okwesenera ku mafuta, n’abalala abaali mu maduuka gabwe nga bakola emirimu, abalala baali batambuze omuliro bwegwakwata negubookya.
Akabenje kaaliwo nga 22 October,2024, emirambo 15 egyasooka okugyibwawo gyali gifuuse bisiriiiza, ate abalala abaali obubi baddusibwa mu malwaliro ng’embeera mbi.#











