Ekikangabwa kigudde ku kyalo Bugaaju mu muluka gwe Kizibira mu gombolola ye Kirumba mu district ye Kyotera, akulira eby’okwerinda ku kyalo ekyo asangiddwa atiddwa.
Attiddwa ye Edward Ssekabira Kanyeenya myaka 37, omulambo gwe gusangiddwa mu nnyumba etanaggwa okumpi n’amakaage.
Kansala w’ekitundu Muwonge John agambye nti Ssekabira abadde musuubuzi wa ttaka, nga kigambibwa nti yalabiddwako ku kyalo Kayirikiti ng’ava okutunda ettaka, era naabaako abatuuze baawaamu eky’okunywa.
Wabula ku makya ga sunday nga 13 October,2024 abaana ababadde bagenda ku luzzi bebalabye ensanke ebadde ebunye ku mulyango gw’ennyumba etannaggwa nga waliwo ne ggambutusi kwekutegeeza abakulu, bagenze okuyingirayo nga defeensi wabwe yattiddwa.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi













