Government ng’eyita mu ministry y’ebyenguudo ewadde district ye Gomba akawumbi k’ensimbi kalamba, okukola enguudo 2 eziweza obuwanvu bwa kms 18 ezibadde zitakyaayitikamu.
Enguudo eziteereddwako ensimbi ezo kuliko oluva e Kigezi Maddu okudda e Kigumba mu Gomba West n’olulala luva ku kyalo Nkwaale okudda e Mamba ku nnyanja Wamala.
District ye Gomba efuna obukadde bwa shs 300 okukola enguudo buli mwaka gwabyansimbi, era abakulembeze baayo bategeezezza nti okusinziira kubuwanvu bw’enguudo ezo ebbiri babadde tebalina busobozi bwakuzikola mu ngeri ematiza.
Abakulembeze ba district ye Gomba basinzidde ku byalo Okuli Mamba, Kiziba ne Nkwaale mu kutongoza Omulimu gw’okukola oluguudo lwa Nkwaale Mamba nebategeeza nti abasuubuzi bebirime naddala Kasooli, emmwaanyi gattako nebyennyanja babadde bakaluubirizibwa.
Ssentebe wa district ye Gomba Kiviiri Godfrey agambye nti omulimu gw’okukola oluguudo lwa Nkwaale Mamba guweereddwa kampuni eya Graphic Mania Advertising Limited.#
Bisakiddwa: Sserugo Patrick











