Abakulembeze n’abakozi ba CBS FM basaze keeci ng’akabonero ak’okulaga obumu, nga CBS fm ejaguza emyaka 28 bukyanga etaandikibwawo.
CBS FM Radio y’Obwakabaka yatandikibwawo nga 22 June,1996.

Webutuukidde leero ng’erina emikutu 2, 88.8 Radio ey’obujajja ne 89.2 Emmanduso, saako emituku gy’okumutimbagano, okuli www.cbsfm.ug, CBSfm ne Emmanduso ku Facebook, ku X, Tiktok ne Youtube.

Keeci bajisalidde ku wofiisi za CBS ku kizimbe Masengere.

Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe agabudde abakozi, n’abeebaza okubeera abayiiya mu nkola y’emirimu.

Omuk.Kawooya Mwebe agambye nti mu myaka 28 egiyise CBS ekoze butaweera okubeera ku ntikko.

Abawadde amagezi okweyambisa enkola empya ey’omulembe gwa digital okukuumira radio ku ntikko.

Ebifaananyi: MK Musa












