• Latest
  • Trending
  • All
Police erabudde bannabyabufuzi abateekateeka akajagalalo ng’olukungaana lwa NAM lutudde mu Kampala

Police erabudde bannabyabufuzi abateekateeka akajagalalo ng’olukungaana lwa NAM lutudde mu Kampala

January 17, 2024
Government ya Uganda etongozza enteekateeka y’okutandika okukozesa  eddagala ekika kya Lenacapavir eriziyiza okukwatibwa siriimu – likubwa mu mpiso buli luvannyuma lwa myezi 6

Government ya Uganda etongozza enteekateeka y’okutandika okukozesa eddagala ekika kya Lenacapavir eriziyiza okukwatibwa siriimu – likubwa mu mpiso buli luvannyuma lwa myezi 6

April 17, 2026

Police ekutte abantu 8 e Kiboga – ebavunaana kwekobaana nebafumbiza omuwala atanetuuka

April 17, 2026
Okukuza olunaku lw’abaana mu Buganda olwa 2026 – Nnaabagereka akubirizza abazadde okusomesa abaana eddembe lyabwe balikozese mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa

Okukuza olunaku lw’abaana mu Buganda olwa 2026 – Nnaabagereka akubirizza abazadde okusomesa abaana eddembe lyabwe balikozese mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa

April 17, 2026
Buweekula erangiridde Andy Ssali ng’omutendesi omuggya – yetegekera kweddiza ekikopo ky’Empaka z’amasaza

Buweekula erangiridde Andy Ssali ng’omutendesi omuggya – yetegekera kweddiza ekikopo ky’Empaka z’amasaza

April 17, 2026
Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Abbas Byakagaba akoze enkyukakyuka mu Police – abasirikale 433 bakyusiddwa

Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Abbas Byakagaba akoze enkyukakyuka mu Police – abasirikale 433 bakyusiddwa

April 17, 2026

Abakwanaganya B’ennono za Buganda mu  Ankole ne Kigezi balayiziddwa – Katikkiro Mayiga abakubirizza okwetegekera emikisa gy’enkulaakulana eziggya era baziganyulwemu

April 16, 2026

Obwakabaka bwa Buganda bwebazizza taata wa Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu – olw’okukuza obulungi abaana

April 16, 2026
Muteesa I Royal University yesozze empaka ez’akamalirizo eza Pepsi University Football League 2026 – yakakubwayo omupiira gumu

Muteesa I Royal University yesozze empaka ez’akamalirizo eza Pepsi University Football League 2026 – yakakubwayo omupiira gumu

April 16, 2026

Abakozi ku CBS basaze keeki okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka age 71

April 16, 2026
Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

April 16, 2026
NRM yewozezaako  by’okwambala ebyambalo bya UPDF nga sibannamagye – basooka kussa mikono ku kiwandiiko

NRM yewozezaako by’okwambala ebyambalo bya UPDF nga sibannamagye – basooka kussa mikono ku kiwandiiko

April 16, 2026
Katikkiro Mayiga atandise okulambula abantu ba Kabaka abali mu Ankole – asoose kulambula bayizi ba Nkobazambogo ku Mbarara University of Science and Technology

Katikkiro Mayiga atandise okulambula abantu ba Kabaka abali mu Ankole – asoose kulambula bayizi ba Nkobazambogo ku Mbarara University of Science and Technology

April 16, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home CBS FM

Police erabudde bannabyabufuzi abateekateeka akajagalalo ng’olukungaana lwa NAM lutudde mu Kampala

by Namubiru Juliet
January 17, 2024
in CBS FM
0 0
0
Police erabudde bannabyabufuzi abateekateeka akajagalalo ng’olukungaana lwa NAM lutudde mu Kampala
0
SHARES
307
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Police etegeezezza nti okutwalira awamu embeera etambudde bulungi, mu kiseera nga Uganda etuuzizza olukungaana lw’omukago gw’mawanga ga Nampawengwa olwa Non Alligned Movement (NAM).

Olukungaana luno lubumbujjira ku Speke Resort e Munyonyo mu Kampala.

Omukago guno gulimu amawanga 120.

Amyuka Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Luke  Oweyesigire  asabye bannaUganda okwongera okukuuma emirembe ng’olukungaana luno lugenda mu maaso, lukomekkerezebwa ku Saturday nga 20  January,2024.

Oweyesigire agambye nti wabula police egudde mu lukwe lwa bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya government abagala okuteekawo obujagalalo mu kibuga, n’abalabula nti bekomeko nti kubanga police yakubangaanga.

Bino webiggidde ng’abakulembeze b’ebibiina ebimu ebiri ku ludda oluvuganya government okuli NUP, FDC ekiwayi kyoku Katonga Road, ekiwayi kya DP, ANT n’ebirala baayisizza ekiteeso eky’okukolera awamu ku nsonga ez’enjawulo ezinyiga bannauganda

Mu kiseera kino olutuula lwa minister abavunaanyizibwa ku mawanga amalala  nga lukubirizibwa minister wa Uganda Gen.Jeje Odongo lwerugenda mu maaso, nga lugguddwawo Vice president wa Uganda Rtd.Major Jesca Alupo.#

NAM (Non Alligned Movement )kye ki?

Uganda yetuuziza olukiiko lwa Non Aligned Movement(NAM) olw’omulundi ogwe 19, ng’olumu ku nkungaana ez’amaanyi mu nsi yonna era nga government egamba nti Uganda yakufunamu nnyo.

Omukago gwa NAM gulimu amawanga agawerera ddala 120, era nga gano galimu abantu ebiweza ebitundu 55% ebya bantu bonna abali ku nsi kuno.

NAM mukago ogwatandikibwawo mu 1961 okutaba amawanga agaalina endowooza nti ensi yali yeyawuddemu ebiwayi bibiri, ngekimu kyali kiwagira Amerika ne banywanyi baayo ba Nasiwa mu kange awamu nabo abaali bekubidde ku ludda olwali lukulemberwa Russia olwalina enkola eya ba Nakalyakaani

Embeera eno yeyasinga okuleetera amawanga agamu agaali tegaagala kulaga ludda, okwegattira mu mukago gwa NAM.

Olutalo wakati wa North Korea ne Soouth Korea nalwo lwaviirako amawanga okwongera okweyawulamu, nga North Korea ewagirwa oludda lwa ba Nakalyakaani ate nga South Korea ewagirwa mawanga aga Nasiwamukange.

Amawanga agakulemberamu NAM okussibwa mu nkola mwemwali India eyali ekulemberwa Jawaharl Nehru, Egypt eyali ekulemberwa Gamal Abdel Nasser, Ghana eyali ekulemberwa Kwame Nkrumah, Yugoslavia olukiiko olwasooka gyelwatuula nga yali ekulemberwa Field Marshal Josip Broz Tito ne Indonesai eyali ekulemberwa Sukarno.

Wabula emyaka bwegigenze giyita, amawanga mangi nga mwemuli ne Uganda, gagenze gegatta ku mukago guno, n’okusingira ddala agavumirira enkola za America ne Russia.

Eggwanga nga Cuba waliwo lweryalemererwa okuvumirira Russia olw’ okulumba Afghanistan, nga kino kyaletera ba memba ba NAM abalala okusazaamu Cuba okukyaza olukiiko olwatuula mu 1979.

Wabula ensangi zino NAM ezze eyisa ebiteeso ebivumirira enkola za Amerika ne banywanyi baayo, nga mwemuli ekya NAM okwagala enkyuukakyuka zikolebwe mu bitongole nga ekya Banka ye Nsi yonna(World Bank) awamu n’ekivunaanyizibwa mu kulondoola ebyenfuna bye nsi (International Monetary Fund), wabula ku nsonga ng’ezivumirira obutujju awo bonna bogera olulimi lwe lwemu.

Omukago gwa NAM gwasaawo obukiiko obwenjawulo obwetongodde obulondoola ensonga ez’enkizo mu nsi, ng’e nsonga eza Palestine, Somalia, enoongosereza mu kibiina kya mawanga amagatte ne nsonga endala nyingi ezigulumbya ensi.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Government ya Uganda etongozza enteekateeka y’okutandika okukozesa eddagala ekika kya Lenacapavir eriziyiza okukwatibwa siriimu – likubwa mu mpiso buli luvannyuma lwa myezi 6
  • Police ekutte abantu 8 e Kiboga – ebavunaana kwekobaana nebafumbiza omuwala atanetuuka
  • Okukuza olunaku lw’abaana mu Buganda olwa 2026 – Nnaabagereka akubirizza abazadde okusomesa abaana eddembe lyabwe balikozese mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa
  • Buweekula erangiridde Andy Ssali ng’omutendesi omuggya – yetegekera kweddiza ekikopo ky’Empaka z’amasaza
  • Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Abbas Byakagaba akoze enkyukakyuka mu Police – abasirikale 433 bakyusiddwa

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist