• Latest
  • Trending
  • All
Abasibe 1033 bebakawebwa ekisonyiwo – wakati w’omwaka 2020 – 2023

Abasibe 1033 bebakawebwa ekisonyiwo – wakati w’omwaka 2020 – 2023

August 30, 2023
Trinity College Nabbingo ejaguzza emyaka 84 okuva weryatandikibwawo – Katikkiro Mayiga asabye amasomero okuyambako abaana okumanya obuwangwa n’ennono zabwe

Trinity College Nabbingo ejaguzza emyaka 84 okuva weryatandikibwawo – Katikkiro Mayiga asabye amasomero okuyambako abaana okumanya obuwangwa n’ennono zabwe

June 14, 2026
Omutaka Gabunga akunze abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ebika byabwe – ab’essiga lya Kagenda bamwanjulidde enteekateeka y’okukyusa obwannanyini bw’ettaka ly’essiga lidde mu kika

Omutaka Gabunga akunze abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ebika byabwe – ab’essiga lya Kagenda bamwanjulidde enteekateeka y’okukyusa obwannanyini bw’ettaka ly’essiga lidde mu kika

June 14, 2026
Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026

Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026

June 13, 2026
Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

June 12, 2026
Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

Elon Musk ye Nnaggagga asoose okufuuka Trillionaire munsi yonna

June 12, 2026
Obwakabaka  bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026

Obwakabaka bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026

June 12, 2026
Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

June 12, 2026
Empaka za FIFA world Cup 2026 zigguddwawo – Mexico ekubye SouthAfrica 2 -0

Empaka za FIFA world Cup 2026 zigguddwawo – Mexico ekubye SouthAfrica 2 -0

June 12, 2026
Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

June 11, 2026
Katikkiro Mayiga agguddewo mu butongole omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – atenderezza CBS FM olw’okuweza emyaka 30 ng’eweereza

Katikkiro Mayiga agguddewo mu butongole omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – atenderezza CBS FM olw’okuweza emyaka 30 ng’eweereza

June 11, 2026
Government ya Uganda egenda kwewola ensimbi obuwumbi bwa shs 730 –  okukwasizaako abalimi okufukirira ebirime

Government ya Uganda egenda kwewola ensimbi obuwumbi bwa shs 730 – okukwasizaako abalimi okufukirira ebirime

June 11, 2026
Tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola mu nnaku 5 eziyise –  president Museveni agumizza bannauganda nti obulamu busiinga ensimbi

Tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola mu nnaku 5 eziyise – president Museveni agumizza bannauganda nti obulamu busiinga ensimbi

June 10, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Uncategorized

Abasibe 1033 bebakawebwa ekisonyiwo – wakati w’omwaka 2020 – 2023

by Namubiru Juliet
August 30, 2023
in Uncategorized
0 0
0
Abasibe 1033 bebakawebwa ekisonyiwo – wakati w’omwaka 2020 – 2023
0
SHARES
96
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssemateeka w’eggwanga Uganda owa 1995 eyalongoosebwamu mu kawaayiro 121 (1) awa omukulembeze w’eggwanga ebbeetu okusonyiwa n’okuddiramu abasibe nebayimbulwa.

Mu kawaayiro kano omukulu alina ebbeetu okusonyira ddala omusibe oba okumuwaamu akaseera akagere n’abeerako ebweru oluvannyuma n’azzibwa mu kkomera olw’embeera ebeera eriwo.

Bano abawa ekisonyiwo ng’asinziira ku kuwabulwa kw’akakiiko akamanyiddwa nga ‘prerogative of mercy committee’ akakulirwa ssaabawolereza wa government.

Akakiiko kano kabaako n’abantu abalala 6 president yennyini baalonda.

Abaweebwa ekisonyiwo be basibe bonna abali ku misango gya nnaggomola n’emisaamusaamu newankubadde abali ku misango emisaamusaamu balina enkizo.

Ettuluba eddala ery’abaweebwa ekisonyiwo, beebo abalina endwadde enkambwe ng’embeera y’obulamu bwabwe eteeka obulamu bw’abasibe abalala mu katyabaga k’okukwatibwa ekimbe sinakindi n’okufa.

Bannamukadde abasajja n’abakazi nabo mu mbeera eno balina enkizo y’okusonyiyibwa.

President era asobola okusonyiwa omusibe olw’enneeyisa ye, naddala singa kitegeerekeka nti mu bbanga lyasibiddwa mu kkomera, yeemenye mu mutima n’akyusa mu nneeyisa ye n’awa n’obweyamu nti ebyamusibya takyabiddira.

Abakulu abaddukanya amakomera bawaayo alipoota ku nneeyisa ya buli musibe, n’embeera endala olwo akakiiko nekasalawo okuweereza omukulembeze w’eggwanga amannya olwo n’alondobamu basonyiwa.

Waliwo n’abasibe abayimbulwa mu mbeera nti baba bakoze obusibe ebitundu bisatu bya kuna ku kibonerezo kyabwe naddala ababeera ku misango gya nnaggomola, ate ab’emisaamusaamu abakozeeko ebitundu 50 ku 100 ku busibe bwabwe, nabo balina omukisa okuyimbulwa.

Nga 28 August, 2023 president Museven aliko abasibe 200 beyawa ekisonyiwo okuva mu makomera 28 okwetoloola eggwanga, era bano baatandise okuyimbulwa okudda okwaboobwe.

Nga 22 April, 2020, president era aliko abasibe 833 beyasonyiwa nebayimbulwa mu kaweefube eyali ow’okutoowoloza ku makomera n’okutangira okusaasaanya ekirwadde kya COVID-19 eyali atigomya eggwanga ebiseera ebyo.

Mu baayimbuddwa ku mulundi guno, kuliko neyali omuteesiteesi omukulu mu ministry y’abakozi Jimmy Lwamafa ayaggalirwa oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango gy’obukumpanya n’okubulankanya ensimbi z’akasiimo k’abaaliko abakozi ba government.

Lwamafa yali yasalirwa ebibonerezo byakusibwa emyaka 7 ne 9, wabula nga gibalirwa wamu, ng’aliko n’abalala basatu abaasaalirwa mu ttuluba lye lye limu naye bbo, omukulu teyabasonyiye.

Mu balala, ye Joseph Magombe eyali omukozi mu kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN eyakyangakyanga ebyuma bya mobile money, olwo n’afiiriza kkampuni ensimbi obuwumbi busatu mu 2015.

Magombe omulamuzi yali yamukaliga emyaka 10, abadde abuzaayo ebiri.

Abasibe abaatereddwa baavudde mu makomera;
1. Luzira
2. Arua
3. Kyenjojo
4. Hoima
5. Kiburara
6. Kiruhura
7. Soroti
8. Bulaula
9. Ntwetwe
10. Kitalya
11. Masindi
12. Olia
13. Wakyato
14. Kicheche
15. Kakumiro
16. Kangulumira
17. Adjumani
18. Nakasongola
19. Ibuga
20. Muinaina
21. Kihihi
22. Fort Portal
23. Mbarara
24. Bubulo
25. Lotuturo
26. Bugungu
27. Oyam
28. Kyakasengura

Bikunganyiziddwa: Kamulegeya Achilleo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Trinity College Nabbingo ejaguzza emyaka 84 okuva weryatandikibwawo – Katikkiro Mayiga asabye amasomero okuyambako abaana okumanya obuwangwa n’ennono zabwe
  • Omutaka Gabunga akunze abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ebika byabwe – ab’essiga lya Kagenda bamwanjulidde enteekateeka y’okukyusa obwannanyini bw’ettaka ly’essiga lidde mu kika
  • Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo
  • Elon Musk ye Nnaggagga asoose okufuuka Trillionaire munsi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist