• Latest
  • Trending
  • All
President Museven alabudde abavumirira ba musigansimbi – Government yakuleeta ennongosereza endala mu tteeka lya NSSF

President Museven alabudde abavumirira ba musigansimbi – Government yakuleeta ennongosereza endala mu tteeka lya NSSF

May 1, 2022
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025

Abaluηamya b’emikolo bawabuddwa okwettanira okusoma basitule omulimu gwabwe

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

President Museven alabudde abavumirira ba musigansimbi – Government yakuleeta ennongosereza endala mu tteeka lya NSSF

by Namubiru Juliet
May 1, 2022
in Amawulire
0 0
0
President Museven alabudde abavumirira ba musigansimbi – Government yakuleeta ennongosereza endala mu tteeka lya NSSF
0
SHARES
102
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

President Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa asabye bannauganda obutagezaako kusibira kikoookolo bamusiga nsimbi abagwira,nti kubanga bakoze ky’amaanyi okutonderawo bannauganda emirimu.

President Museven asuubizza nti n’endagaano y’emmwanyi government gyeyakola ne kampuni ya Vinci coffee company eyewanisizza bannauganda emitima, egenda kuddamu yetegerezebwe.

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza n’okwefumiitiriza ku lunaku lw’abakozi nebibasoomoza ku mirimu, ngemikolo emikulu jikwatiddwa mu kisaawe kyamefuga e Kololo, president gyabadde.

President Museven agambye nti waliwo bannabyabufuzi aboogerera ebisongovu ba musigansimbi abagwira,n’agamba nti kino kyabulabe nnyo eri ebyenfuna by’eggwanga.

Mu ngeri yeemu president Museven ayogedde ku bbeeyi y’ebyamaguzi eyekanamye, ng’abakozi bangi tebasobola kubyetusaako olw’emisaala emitono.

President Museven agambye nti government ye yatandise okwogeraganya n’abantu abenjawulo abakwatibwako, okusalira amagezi ebbeeyi y’ebintu eri waggulu.

Ebyo nga biri bityo,Government okuyita mu ministry y’ekikula ky’abantu eteekateeka okuddamu okukola ennongosereza mu tteeka erirambika entambuza yeemirimu mu kittavvu kyensimbi z’abakozi ekya NSSF, eribadde lyakamala okukolebwako ennongosereza.

Government egamba nti obukwakkulizo obwateekebwa mu tteeka eryakayisibwa bungi bukyalemesezza abakozi okufuna ku nsimbi zabwe okwekulakulanya.

Wano mu Uganda Olunaku luno lutuukidde mu kiseera ng’ abakozi obukadde 2.9 baayimirizibwa ku mirimu olwa Covid 19, sso nga nabakozesa abamu business baaziggalawo olwa Covid n’omuggalo.

Embeera eno yawaliriza gavumenti okuyisa ennongosereza mu tteeka lya NSSF, okusobozesa abakozi okufuna ku sente okwezza obujja.

Abakozi abaasooka omuwebwa omukisa okufuna ku sente zabwe bebawezezza emyaka 10 nga batereka mu NSSF, nga baweza n’emyaka 45 egy’obukulu.

Baweebwa ebitundu 20% ku ssente zebalinayo.

Ate abakozi abaliko obulemu abawezezza emyaka 40 egy’obukulu baakkirizibwa okuggyayo ku sente ebitundu 50%.

Wabula government agamba nti ekizudde nti abakozi bangi abaali tebatuukiriza bukwakkulizo obwo, era nga bali mu mbeera mbi so nga balina sente zabwe mu NSSF.

Akulira NSSF, Richard Byarugaba agambye nti ministry yekikula kyabantu eteekateeka okubaako obuwayiro obumu mu tteeka bwekyusa, okusobozesa abakozi abo okufuna sente.

Byarugaba era atubulidde nti obuwumbi obusoba mu 300 bwebwakasasulibwa ekittavvu kino eri abakozi abaqtuukirizza ebisanyizo abasoba mu 18,100, mu nteekateeka empya eya mid-term access bukya etandikibwako omwezi oguwedde ogwa April.

Annyonyode nti waliwo abaliko abakozi ba kampuni yomukutu gwessimu ogwa UTL, nabo abakyalemeddwa okusasulwa ssente zaabwe olwa kampuni gyebaali bakolera okubaako byewandiikira NSSF ngejiyimiriza ku nteekateeka eno.

Richard Byarugaba n’omumyukawe Patrick Ayota, bebamu ku bantu 50 abaweereddwa emidaali gyabakozi, government beesimye olwemirimu egyenkizo. 

Abalala kuliko minister w’eby’obulamu , Dr. Jane Ruth Achenge Ocero, eyakulemberamu olutalo lw’okulwanyisa Covid 19, era nakazibwako erinnya lya maama Corona,Dr.Ponsiano Kaleebu,Dr.Steven Kagoda, mulimu abasirikale ba police, abajaasi ba UPDF nabantu baabulijjo.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375
  • Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -