Abakulu mu bitongole bya government okuli bank of Uganda, ministry y’ebyensimbi, ekitongole ky’eggwanga eky’ebibalo ki Uganda Bureau of Statistics beevumbye akafubo, n’abakulu mu bank yensi yonna okukubaganya ku bye nfuna bya Uganda webiyimiridde, oluvannyuma lwókukubagana empawa nti tanatuuka mu luse lwámawanga agali yaddeyaddeko mu byenfuna (middle income status).
Gyebuvuddeko president Yoweri Kaguta Museven yasinziira ku kisaawe e Kololo nátegeeza nti Uganda yatuuse mu luse lwámawanga agali mu middle income status, era nti buli munnauganda buli mwaka asobola okuyingiza dollar za America 1,046 bwebukadde bwa shilling 4 buli mwaka.
President Museven yategeeza nti wakati mu bisoomoza Uganda byesobodde okuyitamu mu myaka 2 okuli enzige, amataba n’omuggalo gwa Covid19, Uganda yasobola okusuumuka mu byanfuna byayo, wabula nti kino kirina okutambula emyaka 2 nga tekikyuseemu olwo Uganda lwejja okulangirirwa mu butongole.
Wabula wiiki ewedde World bank bino byonna yabijungulula, bweyategeeza nti Uganda tenatuuka mu middle income status, era netegeeza nti kati buli munnauganda asobola kuyingiza doolar 836 bwe bukadde bwa shs 2 buli mwaka sso ssi dollar 1,046.
Abakulu mu bank yensi yonna baategeeza nti Uganda ekyalina bingi ebyokukola okubaako yadde yaddeko.
Abakulu mu government yakuno wesinzidde okuyita ensisinkano eno n’abakulu mu World bank okugerageranya emiwendo gino.
Ensisinkano eno etudde ku kitebe kyékitongole kyébibalo n’emiwendo ki Uganda Bureau of Statistics wano mu Kampala.