
Uganda ekutte ekifo kya 16 mu mpaka z’ensi yonna ez’emisinde eza World Athletics Championships, ezibadde ziyindira mu Eugene Oregon mu America.
Uganda ewangudde emidaali 3 mu mpaka zino.
Joshua Cheptegei yawangudde omudaali gwa zaabu mu mita omutwalo 10,000, Jacob Kiplimo naye nawangula omudaali gw’ekikomo mu mita omutwlo 10,0000 ne Oscar Chelimo awangulidde Uganda omudaali gw’ekikomo mu mita 5000 obudde nga bukya olwaleero.
Uganda ku midaali gino esubagabye ne Belgium ne Sweden nabo bafunye emidaali 3.
America yesinze okuwangula emidaali emingi giri 33, zaabu 13, feeza 9 n’egyekikomo 11.
Ethiopia ekutte ekifo kyakubiri n’emidaali gya zaabu 4, feeza 4 n’egyekikomo 2.
Jamaica ekutte ekifo kyakusatu n’emidaali 10 okubadde zaabu 2.
Kenya ekutte kyakuna n’emidaali 10 okubadde zaabu 2, feeza 5 n’egyekikomo 3.
China ekutte ekifo kya 5 n’emidaali 6 naabalala ne bagoberera.
Joshua Cheptegei eyawangudde zaabu mu mita omutwalo 10,000, akutte ekifo kya 9 mu mita 5000 olwaleero nga budde bukya.
Mita 5000 aziddukidde eddakiika 13:13:12 olwo Oscar Chelimo nakwata ekifo kyakusatu, naawangulira Uganda omudaali gw’ekikomo ku ddakiika 13:10:20.
Uganda mu mpaka ezaasembayo e Doha mu 2019 yakwata ekifo kya 9 n’emidaali 2 egya zaabu, okwali ogwa Joshua Cheptegei ogwa zaabu mu mita omutwalo 10,000 ne zaabu eyawangulwa Halimah Nakaayi mu mita 800.
Uganda omugatte yatutte ttiimu y’abaddusi 11, nebaleeta emidaali 3.
Empaka za World Athletics Championships eziddako zigenda kubeera mu Budapest Hungary omwaka ogujja 2023, mu mwezi ogwa August.
Uganda kati obwanga ebyolekeza mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza, okutandika ku lwokuna lwa wiiki eno nga 28 July, okutuuka nga 8 August 2022.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe