
William Chipchirichir Sameoi Arap Ruto owémyaka 55 alinze kulayizibwa ku bwa president, ku lwokubiri lwa wiiki ejja, oluvannyuma lwa kkooti ensukkulumu mu Kenya okukakasa obuwanguzi bwe olunaku lwajjo.
Obukadde bwa shilling ya Kenya kshs 200 zezigenda okusaasaanyizibwa mu nteekateeka yokumulayiza.
Emikolo gy’okulayiza William Ruto nga president wa Kenya owokutaano, gisuubirwa okuyindira mu kisaawe kya Moi Stadium.
Abalamuzi 7 aba kkooti eno nga bakulembeddwa ssaabalamuzi Martha Koome, bonna bakaanyizza bukuyege ne bagoba omusango gwa Raila Amolo Odinga, abadde alumiriza nti Ruto akalulu yakabba tekannaba na kubeerawo.
Wabula abalamuzi mu nnamula yabwe baakinogaanyizza nti wewaawo okulonda kwalimu obumulumulu obutonotono, naye tebusazisaamu buwanguzi bwa William Ruto, nti era nóbujulizi obumu Odinga bwe yawaayo obusinga bwali bwakuteebereza mbu na byannawulira.
William Chipchirichir Sameoi Arap Ruto agenda kufuuka president wa Kenya owokutaano.
Agenda kudda mu bigere bya president Uhuru Muigai Kenyatta agenda okunnyuka, oluvannyuma lw’okumalako ebisanja bye bibiri bya myaka 10.
Ruto asuubizza okugatta Bannakenya bonna era ababadde bamuvuganya abakakasizza nti tajja kubayisa nga balabe be.
Ruto wadde babadde tebalima kambugu ne mukamaawe president Uhuru Kenyatta nga ne mu kalulu akawedde teyamusemba, era nti babadde bamaze emyezi nga tebawuliziganya, yasuubizza nti mu bwangu ddala agenda kumukubira banyumyemu.
Wabula president Uhuru Kenya mu bubaka bwe oluvannyuma lw’ensala ya kooti, yayagalizza bonna abaawangula akalulu, naye talina weyayogeredde ku linnya lya Ruto.
”I want to wish well all who have won as they guide our country into the future. I thank you all for the opportunity to serve. May God bless this great Republic of Kenya” :Uhuru
Oludda lwa Raila Odinga lugamba nti wadde lussa ekitiibwa mu nsala ya kooti, nti naye terukkiriziganya na byasaliddwawo.
Mu ngeri yeemu ne Prof George Wajackoyah naye eyavuganya ne Ruto, agambye nti wewaawo kkooti yalamudde bwetyo byatakaanya nabyo, naye asabye Bannakenya bakuume emirembe, era nálabula William Ruto nti aberinde.