
Kizuuliddwa nti obulwadde bw’ebigenge buzeemu nate okuzinda ebitundu bya Uganda ebyenjawulo, ekyongedde okweralikiriza abali mu kawefube w’okulwanyisa endwadde eno.
Ebigenge bulwadde buyita mu mpewo nga bukwatira mu mbeera yeemu ng’akafuba, era obujjanjabi bwebigenge bwefaananyirizaako akafuba.
Abantu abakunukkiriza mu 300 bebazuulibwamu obulwadde buno buli lunaku.
Dr. Bayo Fatumbi, akulira okulwanyisa endwadde ezitasiigibwa mu kitongole kyénsi yonna ekyébyobulamu World Health Organization (WHO), agambye nti government erina okwongera amaanyi mu kubangula abantu ku bulwadde buno.
WHO eriko eddagala lyewaddeyo okuyambako okujanjaba abalina ebigenge, likwasiddwa minister wébyóbulamu Dr Jane Ruth Aceng.
Dr. Aceng agamba nti government eriko enkola ereetebwa egendereddemu okulwanyisa obulwadde buno okubumalirawo ddala, ng’omwaka 2030 tegunayita.
Dr Henry Luzze, akulira ekitongole ekirwanyisa ebigenge nakafuba mu ministry y’ebyobulamu agambye, nti abalwadde bébigenge balina okufuna eddagala lya mpeke 3, wabula abasinga tebalifuna kubanga eddagala government erifunira mu buyambi bwokka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis