
Club ya Wakiso giants eyongedde okugula abazannyi abaggya 2 okuggumiza n’okusitula omutindo gwa ttiimu eno.
Yetegekera sizoni ejja eya Liigi ya babinywera eya Uganda Premier League 2022/23 egenda okutandika nga 30 omwezi guno ogwa September.
Mu kusooka Wakiso Giants mu kwetegekera season ejja, yasooka kulonda omutendesi omugya John Luyinda Ayala nga adda mu bigere by’omutendesi Alex Gita.

Abazannyi abapya abagulidwa Wakiso Giants kuliko omukwasi wa goolo Bashir Ssekagya, Mikidad Ssenyonga, Mubaraka Nsubuga, Apollo Kaggwa, Pascal Irasa, Lincoln Mukasa, Norman Ogik ate nabazannyi okuli Onega Collins ne Nyanzi Marvin bebafunye okuva mu ttiimu y’e ssaza Buddu.
Mungeri yeemu Wakiso Giants etadde abazannyi abawerako okunoonya ebibanja ewalala okuli Fahad Kawooya, Hassan Wasswa Dazo, Derrick Emukule, Simon Namwanja, Pius Kaggwa, Frank Ssenyondo, Edward Saturo ate nga abazannyi Ivan Bogere ne Sam Ssenyonjo, oluvannyuma lw’ endagano zabwe ez’obwazike okugwako.
Wakiso egenda kuggulawo liigi ya season ejja n’okukyalira club ya KCCA FC nga 1 October mu kisaawe e Lugogo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe