Obuwumbi bwa shs 133 zezaayiseemu mu sente z’omusolo, okuva kwogwo ogwali gusuubirwa okukunganyizibwa ekitongole kya Uganda Revenue Authority, mu mwezi gwa september 2022.
Alipoota ya Ministry yebyensimbi eraze nti yali ebaliridde nti URA eggya kukungaanya omusolo gwa trillion 1 nobuwumbi 922, wabula ekitongole ki URA kyakungaanyiza trillion 2 nobuwumbi 56,y’ensusuuba ya buwumbi 133.
Ministry yebyebyensimbi egambye nti okusukuluma mu musolo ogwakungaanyiziddwa omwezi oguwedde ogwa September, kyavudde ku musolo omungi ogwakungaanyzibwa ku bintu okuli Data wa Internet ,omusolo ku mwenge okuli Wine, Waragi, Beer n’ebirala.#