Abakulira ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority (UNRA) nga bakulembeddwamu ssenkulu Allen Kagina boolekedde Pakwach okusalira awamu amagezi ku luguudo olwabbomose nerusalako ekitundu kya West Nile.
Omugga Tanga gwabbomose negusalamu oluguudo oluva e Kampala okudda e Pakwach okumpi n’olutindo lwe Elwiyo .
Waliwo abamu ku balambuzi abaabadde bagenze mu bitundu bye Pakwach ne Nwoya, abasuubuzi n’abalala bakonkomalidde eyo.
Okusinziira ku mubaka wa gavumenti mu district ye Pakwach, Paul Eseru, omugga Tangi gugatta ku Albert Nile wabula enkuba bweyatonnye negawaguza kwekusalamu ekkubo.
Allan Ssempebwa ayogerera ekitongole kya UNRA, awadde abantu amagezi abali mu bwangu okukozesa ekkubo eriyita mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park, kyokka nti ekkubo eryo lyakusasulirayo akasente.
Ate abalala basobola okuyita ku luguudo olugatta ku mwalo nebayita ku kiddyeri.