President w’ekibiina ekifuga Omuzannyo gw’ebikonde munsi yonna ki International Boxing federation Umar Kremlev, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okuwaayo ettaka okuzimbako ekisaawe ky’omuzannyo gw’ebikonde.

Kremlev abadde akiise embuga n’asisinka Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ekiseera kituuse omuzannyo gw’ebikonde nagwo guwebwe enkizo mu Bwakabaka, nti kubanga kye kimu ku biyinza okukumakuuma abavubuka n’okubawa emirimu.
Obwakabaka gyebuvuddeeko bwawoma omutwe mu nkulaakulana y’omuzannyo gw’ebikonde,nebuwaayo yiika 10 ez’ettaka e Gombe Matugga mu Nansana municipality.
Obukadde bwa doola za America 5 zezigenda okukozesebwa okuzimba ekifo kino galikwoleka, era evvuunike limaze okutemwa kitandike okuzimbibwa.
Umar Kremlev agambye nti kifo kino kigenda kuba kyankizo nnyo mu kukyaaza empaka z’ebikonde mu nsi yonna, n’okusingira ddala mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
President w’ekibiina ekitaba abazannyi b’ebikonde ki Uganda Boxing federation Moses Muhanji, yeebazizza nnyo Ssaabasajja ne government ye olw’okulumirirwa okutumbula ebitone by’abavubuka okusitula embeera zabwe.
Bidakiddwa: Kato Denis