Ekibiina ekigatta enzikiriza za kristu ki Uganda Joint Christian Council (UJCC) kisiimbidde ekkuuli enteekateeka za government ez’okwawula ebyapa by’ettaka okuli amasomero okuva ku by’ekkanisa ne klezia.
Abakulu bekengedde nti kyandiba n’ebigendererwa ebikusike ebya government okubatwalako amasomero ago.
Abakulu mu Uganda Joint Christian Council bagamba nti government gyevubuddeko yabalagira okwawula ebyapa bya masomero biggyibwe ku ttaka ly’amasinzizo.
Sso nga era kinajukirwa nti ministry y’ebyenjigiriza nayo yalangirira nga bwegenda okuddamu okuwandiisa amasomero gobwannanyiini gonna mu ggwanga, era gafune certificate ezinaddizibwanga obujja buli luvannyuma lwa myaka ettaano.
Abakulu bagamba nti tewali nsonga nnungamu yayanjuddwa ku nteekateeka zino.
Abakulu mu UJCC basinzidde mu lusirika lwabwe olukulungudde ennaku ebiri ku Jevine Hotel mu Kampala, mwebakubaganyiriza ebirowoozo ku ngeri ebyenjigiriza gyebirina okutereezebwa mu ggwanga, era bavuddeyo ne ensonga 12 zebakkiriziganyizaako.
Muno mulimu eky’okugaana okukyusa ebyapa by’amasomero gabwe okuva ku kanisa oba aga klezia.
Abakulu nga bakulembeddwa Ssabawandisi wabwe Rt.Rev. Archimandrite Constantine Mbonabingi nakulira amasomero mu kanisa ya Uganda Rev .Dr Paul Kakooza, bategeezezza nti baatandikawo amasomero ago okugunjula abaana mu ddini, nga babakwanaganya n’embeera y’ensi.
”Tujja kunyweza ng’enkola bwebadde nti essomero lituula ku kyapa ky’ettaka ly’ekanisa oba kelezia, era byonna biwandiisibwa mu mannya g’obulabirizi oba Diocese. Bwonzigyako ekyapa ky’essomero obeeranga anzigyako obwannanyini bw’essomero, essomero lino libeera mwana wa kanisa oba klezia” UJCC
Bakabona bakatonda bano era basazeewo nti esoomo ly’eddini, science ne technology gonna gasaanye gafuulibwe gabuwaze, kiyambe abayizi okukula nga batya katonda, nokusobola okwetandikirawo emirimu okuyita mu technologiya.
Mungeri yemu bawakanyizza n’enteekateeka ya ministry eyebyenjigiriza, egenderera omuggyawo eky’abakulira enkiiko za Board of Governors z’amasomero, okuba nti babeera n’emikono ku account z’amasomero, n’ebirala
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru