Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Ludo ku semazinga wa Africa, kiwandukuludde club za Uganda 2 obutetaba mu mpaka za Africa Club Ludo Championships ez’omwaka guno 2022, olw’okulemererwa okutuukiriza ebyetaago.
Club zino ye Ntinda United ne Nansana Galaxy eyawangula empaka z’omwaka gwa 2021 ezaali e Dubai.
Kakaano club 14 zokka okuva mu mawanga 7 ze zigenda okuvuganya mu mpaka zino ezigenda okubeerawo okuva nga 5 okutuuka nga 10 December omwaka guno 2022 e Dubai.
President wa Ludo mu Uganda Hussein Kalule agambye nti bakoze ekisoboka okukwatirako club zino, kyokka National Council of Sports neyeerema okubawa ensimbi okusobozesa club zino okukiika mu mpaka zino.
Kino era kimazewo esuubi lya Uganda okukiika mu mpaka z’ensi yonna eza World Ludo Championships ezigenda okubeera e Nepal, okuva nga 26 okutuuka nga 30 November omwaka guno.
Uganda ne South Africa bebabadde balina okukiikirira ssemazinga wa Africa.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe