UGANDA CRANES EGENZE TURKEY

Ttiimu yéggwanga eyómupiira ogwébigere eya Uganda Cranes esitudde akawungeezi kano eyolekedde Bulaaya ne Asia gyegenze okuzannya emipiira etaano egy'omukwano.

Ttiimu eno esitudde kusaawa 9 nékitundu okuva ku kisaawe e Ntebe mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines nabazannyi 24 nómutendesi Milutin Micho Sredojevic.

Uganda Cranes munteekateeka eno egenda kuzannya omupiira ogusooka ne Iceland nga 12 January, nga 15 january ezannye ne Botosani, nga 18 january ezannye Moldova nga gyonna egenda kugizannyira Turkey.

Ku semazinga wa Asia nayo Uganda Cranes egenda kuzannyirayo emipiira 2, nga yakuzannya ne Iraq e Baghdad nga 21 January ate esembyeyo Bahrain nga 27 January mu kibuga Bahrain, olwo ekomewo kuno nga 28 January.

Abamu ku bazannyi 24 abagenze ne ttiimu eno ye Yunsu Ssentamu, Steven Mukwala, Muhammd Shaban, Ashiraf Mugume, Enock Walusimbi, Azizi Kayondo, Patrick Kaddu, Keneth Ssemakula, Benjamin Ochan, Rogers Mato nabalala.

FUFA emipiira gino egigendereddemu okuzimba ttiimu enavuganya obulungi mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers ne CHAN qualifiers ezómwaka 2023.