
Omuwendo gw’abaana abawala abafuluma mu matendekero nga bamazeeko emisomo gyabwe wano mu Uganda gweyongedde okulinnya.
Amattendekero agawerako okwetoloola eggwanga gazze gatikkira abayizi buli mwaka, naye ng’omuwendo gw’abawala guliko waggulu okusinga abalenzi.
Kati emyaka etaano egy’omuddiri𝝶anwa, nga Uganda Christian University etikkira abayizi ng’abawala bebasinga obungi.
Ku matikkira ga University eno ag’omwaka guno agaliwo olunaku lw’enkya nga 29 July,2022, ku bayizi 2,106 abamalirizza emisomo gyabwe , kuliko abawala ebitundu 55% ate abalenzi bali ebitundu 45%.
Gano ge matiikira ga UCU ag’omulundi ogwa 23 ekitundu ekisooka bukyanga ettendekero lino litandikibwawo emyaka 25 egiyise.
Chaplain w’abayizi mu Ssettendekero ono Rev.Can Eng.Paul Wasswa abadde mu luku𝝶aana lw’abamawulire ng’ayogera ku nteekateeka y’amattikira g’olunaku olw’enkya, agambye nti enkola y’abazadde okusomesa omwana omulenzi yekka egenze edibizibwa mu ggwanga, ate n’abaana abawala bongedde okwefaako nebasoma bafuuke abenjawulo.
Can.Wasswa ayongedde okwegayirira abazadde abalina omuze gw’okusosola abaana ab’obuwala nebatabatwala ku massoma okukikomya.
Amattikira g’olunaku olw’enkya gakubeera ku ttabi lya University eno ekkulu erisangibwa e Mukono, era ng’emikolo gyakukulemberwamu Ssenkulu wa ssettendekero ono era Ssaabalabirizzi w’eKanisa ya Uganda ebuna wonna His.Grace the Most Rev.Dr.Samuel Stephen Kazimba Mugalu.
Obutafananako n’amattikira ag’omwaka oguwedde abayizi bwebatikirwa okuyita ku mitimbago olw’embeera y’ekirwadde ki Covid-19 ekyazinda eggwanga, ku mulundi guno abayizi bonna 2,106 abagenda okuttikirwa baakweteba ku mikolo gino.