
Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ebikonde eya The Bombers, eyingidde enkambi ku Forest Park e Buloba okwongera okutendekebwa nga yetegekera empaka za Commonwealth Games.
Empaka zino zigenda kubeera e Birmingham mu Bungereza okutandika n’omwezi ogujja ogwa July.
Uganda mu mpaka zino egenda kukiikirirwa ttiimu yabazannyi 6 okuli Jonah Kyobe ow’obuzito bwa Feather Weight, Joshua Tukamuhebwa owa Light Welter Weight, Owen Kibira owa Welter Weight, Isaac Senyange Junior owa Light Middleweight, Yusuf Nkobeza owa Middle weight ne Nakimuli Teddy owa Fly weight.

Uganda mu mpaka za Commonwealth Games ezasembayo mu 2018 yakiikirirwa abazannyi 5 okwali Juma Miiro yekka eyawangulira Uganda omudaali ogw’ekikomo, David Ssemujju, Nasir Bashir, Regan Ssimbwa ne Shadir Musa Bwogi.
Ttiimu eno eyingidde enkambi yakamala okuwangulira Uganda emidaali 6 okwali egya zaabu 3 mu mpaka za Mount Kirimanjalo Boxing Championships ezaali e Tanzania mu mwezi guno ogwa June 2022.
Ttiimu eno etendekebwa Patrick Lihanda ng’ayambibwako Lawrence Kalyango ne Abdul Tebazaalwa.
Uganda omugatte yakawangula emidaali 31 egy’ebikonde mu mpaka za Commonwealth Games.
Abawangudde zzaabu (Gold) 8
-Godfrey-Justin Juuko 1990 Auckland, mu buzito bwa Light Flyweight .
– Nyakana 1990 Auckland, mu muzito bwa Lightweight.
-Ayub Kalule 1974 Christchurch, mu buzito bwaLightweight
-Mohamed Muruli 1974 Christchurch, mu buzito bwa Welterweight.
-Benson Masanda 1970 Edinburgh, mu buzito bwa Heavyweight)
-Mohamed Muruli 1970 Edinburgh,mu buzito bwa Light Welterweight.
-James Odwori 1970 Edinburgh, mu buzito bwa Light Flyweight.
-George Oywello 1962 Perth, mu buzito bwa Heavyweight.
Abawangudde Feeza (silver) 7
-Thomas Kawere 1958 Cardiff, mu buzito bwa Welterweight.
-Kesi Odongo 1962 Perth, mu buzito bwa Lightweight.
-Leo Rwabwogo 1970 Edinburgh, mu buzito bwa Flyweight.
-Deogratias Musoke 1970 Edinburgh,mu buzito bwa Featherweight.
-James Odwori 1974 Christchurch, mu buzito bwaLight Flyweight.
-Ali Rojo 1974 hristchurch, mu buzito bwa Bantamweight.
-Shadrack Odhiambo 1974 Christchurch, mu buzito bwa Featherweight.
-Victor Byarugaba 1982 Brisbane, mu buzito bwa Light Middleweight.
-Joseph Lubega 2002 Manchester,mu buzito bwa Light Heavyweight.
-Mohamed Kayongo 2002 Manchester, mu buzito bwa Light Welterweight.
Abawangudde ekikomo (Bronze) 16
-J Ssentongo (1962 Perth, BantamWeight)
-F Nyangweso (1962 Perth, Light Middleweight)
-Alex Odhiambo 1966 Kingston, mu buzito bwa Light Middleweight.
-Mathias Ouma 1966 Kingston, mu buzito bwa Middle Weight.
-Benson Ocan 1966 Kingston, mu buzito bwa Heavyweight.
-John Byaruhanga 1974 Christchurch, mu buzito bwa Flyweight.
-Benson Masanda 1974 Christchurch, mu buzito bwa Heavyweight.
-Charles Matata 1990 Auckland, mu buzito bwa Middle Weight.
-Abdul Kaddu 1990 Auckland, mu buzito bwa Light Heavy.
-Fred Mutuweta 1994 Victoria, mu buzito bwa Bantam.
-Charles Kizza 1994 Victoria, mu buzito bwa Heavyweight.
-Jackson Asiku 1998 Kuala Lumpur, mu buzito bwa Fly Weight.
-Martin Mubiru 2006 Melbourne, obuzito bwa Flyweight.
-Fazil Juma Kagwa 2014 Glasgow, obuzito bwa Light Flyweight.
-Mike Ssekabembe 2014 Glasgow, obuzito bwa Super Heavy.
-Juma Miiro 2018 Gold Coast, obuzito bwa Fly Weight.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe