
Abakulembeze bobusiraamu ku muzikiti e Kibuli bayisiza ekiragiro eri ba district Kadth, abakulu bamatwale naabakulembeze boobusiraamu bonna mu bitundu ebitali bimu, okuyimiriza bunnambiro enkola ya bantu abagufudde omuze okuleeta emiddala gy’embizzi ne byotyo ku mikolo gy’okuziika naddala abasiraamu.
Supreme Mufti Sheikh Shaban Muhammad Galabuzi asinzidde mu kusala swallat Eid Aduhah ku muzikiti e Kibuli nayiisa ekiragiro kino.
Supreme Mufti agambye nti ekikolwa ky’okwokya embizzi mu kuziika abasiraamu kikontana n’amateeka obusiiramu kwebutambulira.
Alagidde abakulembeze bobusiraamu okuwandiikira abenyigira mu mulimu gwokwokya embizzi mu kuziika nti mu kuziika abasiraamu tebagendayo, era bakikomye bunnambiro, abanajeema babakwate batwalibwe eri abobuyinza nti kuba batattana ekitiibwa ky’eddiini yobusiiramu.
Sheikh Galabuzi era alabudde abasiraamu abalunda embizzi okufunamu ssente, nti bano balina okusalawo okusigala nga basiraamu banoonye emirimu emirala oba okulunda embizzi.
Supreme Mufti Galabuzi era sabye government okukendeeza ku misolo gyegya ku masomero goobwanannyini, kigayambe obutayongeza bisale by’abayizi n’okunyigirizq abazadde naddala mu kaseera kano nga ebyenfuna bigotaanye.
Akulembeddemu okusaala swala ya Eid Aduha ku kasozi Kibuli Sheikh Ishaka Mutengu mukubulira kwe,asabye abasiraamu okusala ensolo ezikkirizibwa mu ddini zokka.
Muno mulimu embuzi, ente,endiga n’engamiya era nga zirina kuba nga nnamu bulungi, tezirina kamogo era nga zinyirira.

Abasiraamu olumaze okusaala eid, omulangira Kassim Nakibinge n’abagabula ekijjulo.
Bisakiddwa: Lubega Mudasiru
Ebifaananyi: Musa Kirumira