Ab’akakiiko akalondoola eby’obulamu okuva mu maka ga president aka State House Health Monitoring Unit begasse ku by’okunoonyereza ku nsonga y’omuvuzi wa bodaboda alumiriza eddwaliro lya Old Kampala hospital okumuggyamu ensigo ye nga tamanyi.
State house ewandiikidde ab’akakiiko akavunanyizibwa ku kulondoola emirimu gy’abasawo aka Uganda Medical and Dental Practioners Council okubawa alipootaku nsonga eno.
Muhamood Kabanda nga wamyaka 25 alumiriza nti bweyaddusibwa mu ddwaliro lya Old Kampala Hospital oluvannyuma lw’okufuna akabenje, yagibwaamu ensigo ye mu ngeri etaategerekeka.
Agamba nti yagenda okudda engulu ng’alina olukindo ku lubuto ekiraga nti yalongoseebwa mu lubuto,wadde ng’obuvune yali abufunye ku mutwr.
Agamba nti oluvannyuma lw’okusiibulwa ku Old Kampala, yagendako mu malwaliro amalala okumwekebejja olukindo olwo oluvannyuma lw’okwekengera nti yandiba yagibwamu ensigo ye, nti era baagenda okumukebera ng’ensigo ye rmu teriimu.

Dr Wilson Namara akulira akakiiko ka State House Health Monitoring Unit agambye nti bagala ab’akakiiko ka Uganda Medical and Dental Practioners Council okukola okunonyereza okugazi ku nsonga za Muhamoood Kigundu, oluvanyuma kabawe alipoota enaaba ekoleddwa nako katandiikire awo okunonyereza
Wabula Dr Wilson Namara agambye nti banaUganda balina okukimanya nti wano mu Uganda kikyali kizibu okuggyamu ensingo mu muntu neweebwa omulala, nti olw’obutaba na bumanyirivu na busobozi bumala okukyusa ebitundu by’omuntu.
Bino webijidde nga parliament yakayisa etteeka erikkiriza amalwaliro mu Uganda okusimbuliza ebitundu by’omubiri okuva mumuntu omu okudda mu mulala.
Wagenda kussibwawo akakiiko akagenda okulambika amalwaliro ago era gakusokanga kufuna lukusa.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico