
Essomero lya St.Henry’s College Kitovu mu Masaka City lijaguzza emyaka 100 bweddu, bukyanga <span;> litandikibwawo abaminsane ba White Fathers mu 1922.
President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asoomozezza abayizi ba St. HENRY’S COLLEGE KITOVU abaliwo ku mulembe guno, okulabira ku basajja abamaanyi era abayivu abakoze ebya nnaggwano abaayita mu ssomero lino.
Abakubirizza okukwata n’okussa mu nkola amagezi gebafunye mu ssomero lino bayitimuke eyo yonna gyebanagenda nga bavudde mu ssomero lino.
Obubaka buno president Museven abutisse omumyukawe Major Jesca Alupo, n’abuulira abayizi okussa omwoyo ku misomo gyabwe noobutawugulwa abayinza okubasendasenda okugenda okunoonya ensimbi ez’amangu.

Omukulu w’essomero lino Bro. Augustine Mugabo atenderezza Obwakabaka bwa Buganda okulafubana okuyitimusa eby’enjigiriza mu Buganda ne Uganda.
Agambye nti mu 1965 Sekabaka Edward Muteesa II yalambula essomero lino natongoza ekisulo ky’abayizi ekyazimbibwa Obwakabaka bwa Buganda era ekisulo kino nekituumibwa MUTEESA.
Mu ngeri yeemu Omukulu w’essomero yebazizza nnyo Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda olwokubawa omwagaanya ku Radio ya Cbs mu kuteekateka emikolo egy’emyama 100 ate ku bweerere.
Bro. Mugagabo yebazizza president Museven olw’ekizimbe kya science eky’emyaliiro esatu n’ebisenge 8 ekitongozeddwa ku mukolo guno ekyazimbiddwa government.
Ekizimbe kiwemmense ensimbi za Uganda 1.92bn, omugenda okusomesebwa amasomo ga science, nagamba nti kyazimbiddwa gavumenti ya Ug
Omubaka wa Kalungu West Joseph Gonzaga Sewungu ng’ono yakiikiridde Omubaka w’ekitundu kino mu Parliament era akulira oludda oluwabula government mu parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, asabye Vice President ku ky’abasomesa aba science n’aba Arts okubayisa ekyenkanyi nga babasasula Omusaala.
Wasoseewo ekitambiro Kya MISSA ekikulembedde ebijaguzo, nga kikulembeddwa Omutambizi omukulu Bishop omuwummuze owe Saza lye Lugazi Bishop Mathias Ssekamaanya.

Bishop Ssekamaanya atenderezza Omwami wa Ssabasajja Pokino eyaliwo mu biseera ng’essomero lino litandikibwawo olwokukkiriza neritandikibwawo, nakubira omulanga bannanyini Ttaka okuwangayo ettaka eri amasinzizo okukolerako ebyenkulakulana nti kuba tomanya birivaamu eyo mu maaso.
Abaasomerako mu ssomero lino bayisizza ekivvulu mu maaso g’omugenyi omukulu, okuva ku bemyaka egyemabega okutuuka ku baliwo mu kiseera kino.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja