
Obwakabaka bwa Buganda bwerayiridde obutassa mukono ku nsonga z’okulwanirira, okutaasa n’okununula ettaka lya Kabaka erikumpanyiziddwa bannakigwanyizi.
Ssaabawolereza wa Buganda era minister wa government ez’ebitundu, Owek. Christopher Bwanika asinzidde mu lukungaana ne bannamawulire mu Bulange e Mengo, n’agamba nti emu ku ssemasonga Buganda kwetambulira y’eyokukuuma ettaka lya Buganda.
Owek. Bwanika abadde atangaaza ku nsonga z’ebyapa by’ettaka ebyaweebwa omusuubuzi Hamiss Kiggundu ng’ayita mu kampuni ye eya Kiham Enterprises ku ttaka lya Kabaka e Kigo mu district y’e Wakiso, government byeyalagidde bisazibwemu.
Ettaka lino liri ku block 273, nga kuno kwekuli poloti 23974, 23975 ne 23976 ebyawebwa Ham Kiggundu nga byasalibwa mu poloti 23720 eya Kabaka.
Owek.Bwanika agambye nti ettaka lya Kabaka liri ku Mailo songa ate Hamis Kiggundu yali aweereddwako ebyapa bya Free Hold ekitakkirizibwa mu mateeka.
Mu mbeera eno Obwakabaka bwebazizza nnyo Commissioner avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa Baker Magaino okusalawo okusazaamu ebyapa bya Ham byeyafuna mu ngeri y’amancoolo.
Gyebuvuddeko Obwakabaka bwekubira enduulu mu minisitry y’ettaka ku nsonga ya Hamis okufuna ebyapa bya Freehold ku Mailo ya Kabaka, ekyawaliriza eggwandiisizo ly’ebyapa okutondawo akakiiko k’abakugu okwekenenya ensonga eno.
Akakiiko kaliko omupunta omukulu owa government, n’abakungu abalala, nga beegattibwako bannamateeka ba Kabaka Kiwanuka and Karugire Advocates, ne Ssebalu and Lule Advocate, aba Buganda Land Board, Ham Kiggundu naye yakiikirirwa bannamateeka be aba Muwema and Co. Advocates.
Bano bonna baagenda butereevu, ku ttaka era nekizuulibwa nti akakiiko k’ekitundu akaalina okuwa alipoota ku ttaka lino tekaali katuufu, kaalina kuba ka Makindye Ssabagabo Land Board, wabula Ham yayita mu ka Kajjansi Area Land Committee akataalina buyinza mu mateeka.
Kinajjukirwa nti akakiiko kano nga tekanassibwawo, Hamis Kiggundu muzzukulu wa Mugema yeesitula bukolokolo n’ajja embuga, n’alaga era n’asuubiza nti yali tayinza kusika muguwa na Kabaka, era yavaawo ng’asuubizza nti yali avudde ku ttaka lya Kabaka erisangibwa e Kigo okuliraana Serena Hotel.
Wabula wayita mbale, Kiggundu neyeekyusiza mu kiti ng’embazi, n’asitula buto enkundi era nategeeza nti ebyapa byalina bya biri mu ttaka lya Nnyanja era nti ssi lya Kabaka.
Owek. Bwanika agambye nti amateeka ga Uganda tegakkiriza muntu yenna kufuna kyapa ku nnyanja, mu lutobazzi, mu kibira n’ebifo ebirala byonna ebyolukale kale nga Kiggundu ne munywanyi we Edward Nakibinge bwebaakolagana ku ttaka eryo okutegeeza nti ebyapa baabifuna ku nnyanja nakyo kimenya mateeka.
Ezimu ku nsonga omukungu wa Uganda Land registration Commission kweyasinzidde okusazaamu ebyapa bya Kiggundu, kuliko amancoolo abakulu mu kakiiko k’ebyettaka mu district y’e Wakiso gebaakola mu kukwasa Ham Kiggundu ettaka omwali n’okugingirira ebimu ku biwandiiko eby’enkizo.
Wabula omwogezi w’ekitongole kya Buganda Land Board Denis Bugaya agambye nti ssinga Ham tajjaawo byonna byabadde azimbye ku ttaka lya Kabaka baakuyita mu mateeka ensonga zongerwe okuttaanyizibwa.
Obwakabaka bulabudde abantu bonna omuli n’abakungu mu government okwesonyiwa ettaka lya Kabaka, nti kubanga kizuuliddwa nga bangi beesomye okujooga n’okubba ettaka lya Kabaka.
Bino byonna webijjidde ngawaliwo abeesomye okuwamba ettaka ly’embuga z’eggombolola mu ssaza Mawogola ne Bugerere era abakungu ba Kabaka abavaayo okulirwanirira ate bakwatibwa nebasibwa mu makomera nebaggulibwako ogw’okusaalimbira ku ttaka.
Bisakiddwa: Achileo Kamulegeya K.