Obwakabaka bwa Buganda bukwasizza omukyala Nakyazze Evelyn Birabwa ennyumba ey`omulembe, Ssabasajja Kabaka gyamuzimbidde ku kyalo Kasala mu Ggombolo ye Kyampisi mu Ssaza Kyaggwe.
Ennyumba emuweereddwa erimu ebisenge ebisulwamu bisatu ne ddiiro.
Eteekeddwako tanka y’amazzi ya litre 3000, Kabuyonjo n’ekinaabiro eky`omulembe.
Mu nteekateeka yókuzimba ennyumba eno, Obwakabaka bukwataganye ne banywanyi babwo aba Habitat for Humanity ne Housing Finance Bank.
Omukyala ono abadde abeera yekka, nga kigambibwa nti bba yabulira ku mwalo gwe Katosi mu mwaka gwa 2008.
Alina abaana bataano balabirira, kuliko babiri babagandabe.

Ennyumba gyábadde esulamu ebadde ya kisenge kimu, yazimbibwa na budongo néssubi era ngébadde eri ku ndebolebo ya kubagwira.
Minister wa Buganda avunanyizibwa ku by’ettaka, obusubuuzi, obulimi n`obutonde bwensi Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje nga yakwasiiza omukyala ono ennyumba, amusabye akulize abaana be mu nnono n`obuwangwa bw`obwakabaka, kubanga kyekirabo kyasobola okuwa Bbeene.
Ku lwa Habitat for Humanity, Luyiga Brenda yeyanzizza Ssabasajja Kabaka, olw`okusiima ekitongole kyabwe okukolaganira awamu n`obwakabaka okuzimbira abantu abali mu bwetaavu amayumba ag`omulembe.
Mu ngeri yeemu nebanamukago aba Housing Finance Bank, nga bakulembeddwamu Ssenkulu waayo Mike Mugabi, basiimye nnyo Maaso Moogi olw`okulabira ewala, nasiima nabawa omukisa okukolaganira awamu n`obwakabaka okuzimbiira mukyala Evelyn ennyumba ey`omulembe.
Nakyazze Evelyn Birabwa azimbiddwa ennyumba, bwaweereddwa akazindalo okwogera, olwéssanyu atulise butulisi n’’akaaba.