Ssabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri obuganda mu Lubirirwe olwe Mengo, mukujjaguza bwejiweze emyaka 29 ng’ali ku Namulondo yaba Jajjabe alamula obuganda.
Emikolo gy’omwaka guno obutayawukanako n’omwaka ogwaggwa jikwatiddwa mu ngeri ya science abantu batono abaayitiddwa okwewala ekirwadde kya Covid 19.
Abaayitiddwa bebakiikiridde abantu b’Empalabwa abazze mu Lubiri lwe e Mengo, okujaguza emyaka 29 egy’amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Mu myaka gyino 29 Empologoma ezze okubiriza abantu okukola n’amaanyi buli omu okwerwanako okweggya mu bwavu nga tebatunuulidde muntu mulala yenna.
Emikolo gyomwaka guno gitambulira ku mulamwa ogw’okulwanyisa mukenenya naddala mu bizinga.
Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga azze akubirizza abaami mu bizinga okukomya emputtu, wabula bagoberere enkola ezassibwawo okulwanyisa obulwadde, omuli okwekebeza n’okukozesa obupiira.
Omukubiriza w’olukiiko lwa bataka omutaka Augustine Kizito Mutumba, atenderezza empologoma olwokwewaayo mu buli nsonga, naddala ezzo eziruubirirwa okusitula abantu mu byenfuna.
Ssentebe wenteekateeka z’omukolo gw’omwaka guno era sipiika w’olukiiko Patrick Luwagga Mugumbule, asabye abantu abataayitiddwa ku mukkolo okwekuumira ku radio ya CBS ne BBS Terefayina ne ku mitimbagano gya CBS okugoberera byonna ebigenda mu maaso ku mikolo gy’amatikkirwa.
Empologoma yatuzibwa ku Nnamulondo nga 31 July, 1993 ku mikolo egyali wali ku kasozi e Naggalabi Buddo mu Busiro.
Waali wayise emyaka 27 ng’ Obwakabaka bugyiddwawo gavumenti ya Kawenkene Milton Obote mu mwaka gwa 1966.
Amagye agali gaddumirwa Iddi Amin Dada gaaalumba olubiri lwe Mengo, Kabaka Walugembe Fredrick Muteesa II nawangangukira e Bungereza era eyo gyeyakisiza omukono.
Obwakabaka mu myaka gino 29 nga Kabaka Mutebi II alamula, buyise mukosoomozebwa okwenjawulo kyokka nga waliwo n’ebintu ebiwerako ebikoleddwa omuli nebitongole byobwakabaka ebyenjawulo ebitondeddwawo.
Wadde nga abantu bangi baali tebasubira nti Obwakabaka bwebunazibwawo buyinza okugenda mu maaso, naye abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu myaka gino balaze obumu n’obumalirivu naddala mu bavubuka ekibuyambye okugenda mu maaso.
Wabula wadde nga waliwo obuwanguzi ebimu kubitayinza kwerabirwa ebisinze okusoomooza obwakabaka mwemuli okutondawo obukulembeze obwensikirano obwekimpatira ,okussa emisanvu mu kkubo okukugira Ssaabasajja Kabaka okulambula ensi ye, ekibba ttaka ekiyitiridde mu Buganda, okusanyizibwawo kwebintu bya Buganda omuli namasiro ge Kasubi, obwavu obuyitiridde mu bantu ba Kabaka nebirala.