Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abantube olw’Okufuba okutaasa ensi nga beenyigira mu kuzzaawo Obutondebwensi, okugiwonya ebibambulira ebiyinza okubalukawo ssinga tebukuumibwa.
Ng’asinziira mu Lubirilwe e Mengo mu kukuza olunaku lwa Bulungibwansi n’ameefuga ga Buganda, Nnyinimu yeebazizza abavubuka olwokukwata omumuli nebeenyigira mu mirimu egitaasa Obutondebwensi, kyagambye nti kitaddewo essuula empya.
Maaso moogi mu ngeri yeemu agambye nti okukozesa enkola ya Bulungibwansi okutumbula obutondebwensi ly’ekkubo lyokka Buganda ne Uganda mwegenda okuyita okuddamu okufuuka ekkula, mungeri eyenjawulo neyeebaza ekitongole ekirondoola obutondebwensi ki NEMA olw’obuweereza.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ayozaayozezza Bannakyaggwe olwokutuuka ku buwanguzi nebasinga amasaza gonna e 18 obuweereza, kyokka naasaba abantu ba Beene okujjumbira enkola ya Bulungibwansi mu buli byebakola.
Omwami wa Beene atwala essaza Kyaggwe Ssekiboobo Elijah Boogere, ategeezezza Obuganda nti Kyaggwe ekutte omumuli gw’Okuzzaawo Obutondebwensi n’okusimba ekibira kya Ssaabasajja kya Yiika 30, neyeeyama okukiwa obukuumi obumala.