• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabasajja Kabaka agguddewo omupiira gw’ebika by’Abaganda 2022 – Engo ekubye Embwa mu maaso g’empologoma

Ssaabasajja Kabaka agguddewo omupiira gw’ebika by’Abaganda 2022 – Engo ekubye Embwa mu maaso g’empologoma

June 11, 2022
Katikkiro Mayiga alabudde Bannabulemeezi kukulagajjalira ettaka – baleese oluwalo 2022

Katikkiro Mayiga alabudde Bannabulemeezi kukulagajjalira ettaka – baleese oluwalo 2022

June 28, 2022
Ekyapa kye ttaka government kyeyaliyirirako ensimbi akawumbi 1.6 kyafuluma eggwanga liri ku muggalo – COSASE

NRM etandise okuwandiika abagenda mu EALA

Rugby Cranes esitudde egenze France mu mpaka za Africa

Rugby Cranes esitudde egenze France mu mpaka za Africa

June 28, 2022
Abantu 4000 bebesowoddeyo okwewandiisa okuyingira  amagye ga UPDF

Abantu 4000 bebesowoddeyo okwewandiisa okuyingira amagye ga UPDF

June 27, 2022
Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde embalirira y’omwaka ogujja 2022/2023 ya buwumbi 157.8

Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde embalirira y’omwaka ogujja 2022/2023 ya buwumbi 157.8

June 27, 2022
Mu bifaananyi-Olukiiko lwa Buganda lutudde okusoma embalirira ya 2022 / 2023

Mu bifaananyi-Olukiiko lwa Buganda lutudde okusoma embalirira ya 2022 / 2023

June 27, 2022
St.Henry’s College Kitovu ejaguza emyaka 100 – abayizi b’e Makerere bagisabidde

St.Henry’s College Kitovu ejaguza emyaka 100 – abayizi b’e Makerere bagisabidde

June 26, 2022
Amasomero gajaguzza emyaka 40 – ng’essaza Kiyinda Mityana liyinda

Amasomero gajaguzza emyaka 40 – ng’essaza Kiyinda Mityana liyinda

June 26, 2022
Mu bifaananyi -Essanyu ly’okwaniriza Kabaka mu Buddu ng’aggulawo empaka z’amasaza 2022

Mu bifaananyi -Essanyu ly’okwaniriza Kabaka mu Buddu ng’aggulawo empaka z’amasaza 2022

June 26, 2022
BannaBuddu banyiize okugwa amaliri ne Mawogola mu maaso ga Kabaka

BannaBuddu banyiize okugwa amaliri ne Mawogola mu maaso ga Kabaka

June 25, 2022
Ssaabasajja Kabaka asiimye n’aggulawo empaka z’amasaza 2022

Ssaabasajja Kabaka asiimye n’aggulawo empaka z’amasaza 2022

June 27, 2022
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Ssaabasajja Kabaka agguddewo omupiira gw’ebika by’Abaganda 2022 – Engo ekubye Embwa mu maaso g’empologoma

by Namubiru Juliet
June 11, 2022
in BUGANDA, Sports
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka agguddewo omupiira gw’ebika by’Abaganda 2022 – Engo ekubye Embwa mu maaso g’empologoma
0
SHARES
34
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Ssaabasajja agguddewo emipiira gy’ebika 2022

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naatongoza empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda ez’omwaka 2022, Engo newangula Embwa.

Ssaabasajja ng’ateeka omukono ku mupiira ogw’ekijjukizo ky’omupiira gw’ebika 2022

Bazzukulu ba Muteesaasira ab’engo bateebye goolo 4, ate aba Mutasingwa bateebye 2 mu mupiira ogw’ebigere.

Mu mupiira ogw’okubaka ab’embwa bayingizza obugoba 26 ate ab’engo 25.

Namungi w’omuntu ayose buliro emipiira gino egiyindidde ku kisaawe e Kasana Luweero mu ssaza Bulemeezi.

Tiimu y’ekika ky’Engo

Ggoolo z’Engo ziteebeddwa  abazannyi okuli Senabulya Frank 2, Ssekiranda Derrick 1 ne Lubowa Jonah Micheal 1.

Tiimu y’ekika ky’Embwa

Ate goolo z’embwa ebbiri  ziteebeddwa Ivan Bagenda.

Omupiira nga tegunatandika Nnyininsi empologoma ya Buganda ng’ebugiriziddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek.Prof. Hajji Twaha Kigongo Kawaase ne ba minister abakulembeddwamu omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule ne Bajjajja abataka ab’obusolya , asambye omupiira ng’akabonero akalaga nti empaka zitongozeddwa.

Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Twaha Kawaase Kigongo asabye abazzukulu okwongera okuwagira ebika n’enteekateeka endala zonna ez’obwakabaka.

Abayizi ba St.Peter’s Bombo Kalule basanyusizza empologoma

Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’Okweewummuza mu Bwakabaka Owek Henry Ssekabembe Kiberu agambye omupiira gwa leero guwadde ekifaananyi ekirungi eky’Obwakabaka okwongera okusitula bannabitone, naasaba abakulembeze ku buli mutendera okwongera obuvujjirizi.Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’empaka z’Ebika by’Abaganda Owek Sulaiman Magala  asabye abavuganya okukuuma empisa.

Omutaka Gguluddene Mutasingwa jajja w’akasolya ow’ekika ky’Embwa agambye nti kyakoze akikoze bwafuntudde Engo mu mpaka z’abakyala ez’okubaka.

Omutaka Mutesaasira Keeya Tendo Namuyimba, jajja w’akasolya ak’Engo alabudde nti ku lino ekikopo ekyetaaga nnyo, era nti wakufafaagana n’ebika ebisigaddeyo nga bwakubye Embwa goolo 4 nnambirira(Engo yakakiwangula omulundi gumu mu 2001).

Omutanda omupiira oluwedde n’asiibula abantu be nadda mu lubiri lwe.

Yonna gyayise abantu babadde bakwatiridse ku makubo, abalala balinnye ku miti n’amayumba okumulengerako.

Abato n’abakulu bazze okulaba ku Mpalabwa.

Abagoba ba bodaboda mu Bulemeezi bamuwerekedde okuva e Kasana okutuuka mu Kampala.

Ebika ebizze biwangula engabo y’empaka z’omupiira okuva mu 1950:

1950: Mbogo
1951: Ngabi Nsamba
1952: Mmamba Gabunga
1953: tezaazaanyobwa
1954: tezaazaanyibwa
1955: Kkobe
1956: Mmamba Gabunga
1957: Nyonyi Nyange
1958: Ngeye
1959: Mmamba Gabunga
1960: Ffumbe
1961: Bbalangira and Kkobe
1962: Nkima
1963: tezaazaanyibwa
1964: Mmamba Gabunga
1965: Mmamba Gabunga
1987: Ngabi Nsamba
1988: Lugave
1989: Mmamba Gabunga
1990: Lugave
1991: Ngeye
1992: Ngeye
1993: Nkima
1994: Mmamba Gabunga
1995: Lugave
1996: Mpindi
1997: Nnyonyi
1998: Lugave
1999: Lugave
2000: Mpologoma
2001: Ngo
2002: Mpologoma
2003: Mmamba Gabunga
2004:Lugave
2005: Ffumbe
2006: Mpindi
2007: Ngabi Nsamba
2008: Kkobe
2009: Ffumbe
2010: Nte
2011: Mmamba Gabunga
2012: Ngeye
2013: Ngabi Nsamba
2014: Mmamba Gabunga
2015: Mbogo
2016: Nte
2017: Nte
2018: Nkima
2019: Mbogo

Bisakiddwa:Kato Denis ne Issah Kimbugwe

Ebifaananyi: Musa Kirumira

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Katikkiro Mayiga alabudde Bannabulemeezi kukulagajjalira ettaka – baleese oluwalo 2022
  • NRM etandise okuwandiika abagenda mu EALA
  • Ekyapa kye ttaka government kyeyaliyirirako ensimbi akawumbi 1.6 kyafuluma eggwanga liri ku muggalo – COSASE
  • Rugby Cranes esitudde egenze France mu mpaka za Africa
  • Abantu 4000 bebesowoddeyo okwewandiisa okuyingira amagye ga UPDF

Recent Comments

No comments to show.

News sectioning

Plugin Install : Widget Tab Post needs JNews - View Counter to be installed
  • Trending
  • Comments
  • Latest
ABASIBE BAFIIRIDDE MU KABENJE, BABADDE BAGENDA MUNNIMIRO

ABASIBE BAFIIRIDDE MU KABENJE, BABADDE BAGENDA MUNNIMIRO

February 17, 2022
Omwoleso gwa CBS Pewosa aboolesezza n’abalambuzi baganyuddwa

Omwoleso gwa CBS Pewosa aboolesezza n’abalambuzi baganyuddwa

April 18, 2022
Obwakabaka bwa Buganda butangaazizza ku nnyonyi eyatwala Ssaabasajja Kabaka e Germany

Obwakabaka bwa Buganda butangaazizza ku nnyonyi eyatwala Ssaabasajja Kabaka e Germany

March 28, 2022
Abayizi abatanaweza myaka 18 sibakuddamu kuwandiisibwa mu matendekero gébyekisawo

Abayizi abatanaweza myaka 18 sibakuddamu kuwandiisibwa mu matendekero gébyekisawo

April 26, 2022
Supreme Court return Crane Bank to Sudhir

Supreme Court return Crane Bank to Sudhir

February 11, 2022

The co-founder of Quality Chemicals dies.

0

Uganda, TOTAL Agree on Pipeline Project.

0

South Sudan reopens schools after 6-month lockdown.

0

President Yoweri Museveni is in Tanzania to sign an implementation agreement for the East Africa Crude Oil Pipeline (EACOP) project.

0

NUP Coordinator Accuses Police Of Torture

0
Katikkiro Mayiga alabudde Bannabulemeezi kukulagajjalira ettaka – baleese oluwalo 2022

Katikkiro Mayiga alabudde Bannabulemeezi kukulagajjalira ettaka – baleese oluwalo 2022

June 28, 2022
Ekyapa kye ttaka government kyeyaliyirirako ensimbi akawumbi 1.6 kyafuluma eggwanga liri ku muggalo – COSASE

NRM etandise okuwandiika abagenda mu EALA

June 28, 2022
Ekyapa kye ttaka government kyeyaliyirirako ensimbi akawumbi 1.6 kyafuluma eggwanga liri ku muggalo – COSASE

Ekyapa kye ttaka government kyeyaliyirirako ensimbi akawumbi 1.6 kyafuluma eggwanga liri ku muggalo – COSASE

June 28, 2022
Rugby Cranes esitudde egenze France mu mpaka za Africa

Rugby Cranes esitudde egenze France mu mpaka za Africa

June 28, 2022
Abantu 4000 bebesowoddeyo okwewandiisa okuyingira  amagye ga UPDF

Abantu 4000 bebesowoddeyo okwewandiisa okuyingira amagye ga UPDF

June 27, 2022
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist