
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu Uganda ekya Uganda Netball Federation, kikakasiza ttiimu ya She Cranes yabazannyi 12 okugenda e Bungereza okuzannya emipiira egy’omukwano, okugiyambako okwetegekera empaka za Netball World Cup ezigenda okubeera e South Africa omwaka ogujja 2023.
She Cranes ezeeyo e Bungereza oluvannyuma lw’omwezi nga yakavaayo, yaliyo mu mpaka za Commonwealth Games n’ekwata ekifo kya 5.
Abazannyi okuli Stella Oyella, Jessica Achan, Norah Lunkuse ne Shaffie Nalwanja be bokka abaali ku ttiimu eyakiika mu mpaka za Commonwealth Games.
Wabula bano tebalabikidde ku ttiimu ezeeyo e Bungereza, ate ng’abazannyi abapya ku ttiimu egenze e Bungereza ye Rose Namutebi, Faridah Kadondi, Shakira Nakanyike ne Viola Asingo.

She Cranes egenda kuzannya ne Northern Ireland nga 28 ne 29 september, ezeeko Wales nga 1 ne 2 october, ezeeko Bungereza emizannyo 3 nga 5, 8 ne 9 October, Scotland nga 10 esembyeyo club ya Loughborough Lightening nga 12 October,2022.
Empaka za Netball World Cup e South Africa zigenda kubeerawo okuva nga 28 july okutuuka nga 6 August, 2023.
Uganda egenda kukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okuna, nga yasooka mu 1979, 2015 ne 2018.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe