
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eya She Cranes Fred Mugerwa, asudde abazannyi 5 nasigaza ttiimu y’abazannyi 17 abayingiddde enkambi.
She Cranes yetegekera mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August omwaka guno 2022.
Ttiimu ebadde etendekebwa ku Kamwokya Community Sports Center nga tesuzibwayo, wabula okuva n’olwaleero enkambi egenda kugikuba e Nakirebe Sports Arena ng’esuzibwayo.
Ttiimu eno mu nkambi egenda kubeerayo nabazannyi 16 ku 17, wabula nga captain wa ttiimu Peace Proscovia wakujegattako ngétuuse e Bungereza.
Abazannyi abasalidwako 5 ye Asinah Kabendera owa club ya Weyonje, Christine Namulumba owa Prisons, Rose Namutebi owa KCCA, Sarah Nakiyunga ne Kayeng Privas aba club ya NIC.
Abazannyi abagenda munkambi e Nakirebe kuliko Mary Nuba, Stella Oyella, Shadia Nasanga, Achan Jessica, Bagaala Magret, Irene Eyaru, Joan Nampungu, Lunkuse Norah, Nakanyike Shakirah nabalala wabula ttiimu eno era egenda kwongera okukendezebwako okutuuka ku bazannyi 12.
She Cranes mu mpaka za Commonwealth Games yatekebwa mu kibinja B ne Bungereza, New Zealand, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Malawi era ya kuggulawo ne New Zealand nga 30 omwezi guno ogwa July.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe