Ttiimu ya Senegal ey’omupiira ogw’ebigere eya The Teranga Lions, ye ttiimu ya Africa esoose okuwangula omupiira mu mpaka za FIFA World Cup 2022 eziyindira e Qatar.
Senegal ekubye abategesi aba Qatar goolo 3 – 1 bw’etyo Senegal n’eweza obubonero 3.
Omupiira omulala oguzanyiddwa mu kibinja kino Budaaki eremaganye ne Ecuador goolo 1-1, nga kati Budaaki ekulembedde n’obubonero 4, Ecuador yakubiri n’obubonero 4, Senegal obubonero 3 ate Qatar esembye nga terinaayo kabonero.
Omupiira ogwasosewo Iran yakubye Wales goolo 2 – 0, ate mu mupiira omulala Bungereza eremaganye ne United States of America 0 – 0.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe