Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Sand Cranes etandise okutendekebwa mu nkambi ku FUFA Technical Center e Njeru, yetegekera mpaka za Africa Cup of Nations Beach Soccer.
zigenda okubeera mu kibuga Maputo ekya Mozambique okuva nga 21 okutuuka nga 30 omwezi guno ogwa October.
Ttiimu eyingidde enkambi erina abazannyi 12 wansi w’omutendesi Angelo Schirinzi, era Uganda Sand Cranes mu mpaka zino eri mu kibinja B ne Misiri, Senegal ne Madagascar, era Uganda Sand Cranes yakuggulawo ne Senegal nga 22 omwezi ogujja ogwe 10.
Uganda empaka zino egenda kuzetabmu omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa oluvanyuma lw’okuzetabmu omwaka oguwedde 2021 e Senegal era n’ekwata ekifo kya 4.
Empaka za Africa Cup of Nations Beach Soccer zigenda kukolanga akakungunta ak’okusunsulamu ensi era ezigenda okukikirira Afroca mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA Beach Soccer World Cup ezigenda okuberawo omwaka ogujja 2023.
Empaka za Africa Cup of Nations Beach Soccer zatandika mu 2006 era Senegal yekyasinze okuangula empaka zino emirundi emingi 6 ate nga bebawangula n’empaka ezasembayo mu 2021 zebategeka.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe