
Abazannyi 14 bebalondeddwa okukiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza, okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August 2022.
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eyómuzannyo gwa Rugby eya Uganda Rugby Sevens, Tolbert Onyango, yálangiridde abazannyi bano, okuli Michael Wokorach captain wa ttiimu eno omuzannyi wa club ya Heathens ne Ian Munyani omumyukawe era omuzannyi wa club ya Kobs.
Abazannyi abalala kuliko Philip Wokorach (AS Bédarrides – France), Adrian Kasito (KOBs), Aaron Ofoyrowth (Heathens), Okeny Nobert (Heathens), Claude Otema (Heathens), William Nkore (Pirates), Timothy Kisiga (Pirates), Desire Ayera (Pirates), Isaac Massa (Pirates), Karim Arinaitwe (KOBs), Alex Aturinda (Pirates), Levis Ocen (Buffaloes
Uganda Rugby Sevens okukiika mu mpaka za Commonwealth Games yawangula empaka za Rugby Africa Cup Sevens ezaali wano mu April omwaka guno e Kyadondo, bweyakuba Zimbabwe obugoba 28 – 00.
Kelvin Balagadde ye muzannyi yekka asuuliddwa ku ttiimu eyawangula empaka z’ekikopo kya Africa.
Uganda, Kenya ne Zimbabwe ze zokka ezigenda okukiikirira semazinga wa Africa mu mpaka za Commonwealth Games.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe