Ekitongole ekivunanyizibwa ku kudduukirira abagudde ku buzibu ekya Uganda Red Cross Society, kyetaaga akakadde kalamba aka doola, mu za Uganda bwe buwumbi bwa shs 3 n’obukadde nga 700, okuduukirira abantu abaakosebwa amataba mu buvanjuba bwa Uganda.
District okuli Mbale, Butalejja, Bulambuli, Kapchorwa, Sironko n’endala zezimu ku zaakosebwa amataba agaatandika ku Sunday ya wiiki ewedde, okuva mu mugga Nakabango oguli ku lusozi lwa Masaaba (mt Elgon).
Kwesiga Robert, ssenkulu wa Uganda Red-cross society, agamba nti abantu abasoba mu 1000 tebalina webeegeka luba era nga beetaga obuyambi obw’amangu, so nga n’ebintu omuli amasomero, amakubo, amalwaliro n’ebirala byonna byayonoonese.
Kwesiga agamba nti mu bwangu ddala betaaga shilling obuwumbi 3 n’obukadde nga 700 eziba zisookerwako okutaasa abantu abaakosebwa embeera eno.
Kwesiga mungeri yeemu awanjagidde government okwongera okusiga ensimbi eziwera mu kulwanyisa ebizibu nga bino ebyamataba nekyeya, nti kubanga mu bitundu ebimu kizuuliddwa nti embeera eno yeyoleka buli mwaka.
Agamba nti naabantu abamu beetaga okusengulwa bajjibweyo mu bitundu bino ebigwamu ennyo obusandali, nti kubanga embeera yaabwe eri mukattu.
Ekitongole ky’entebereza y’obudde kyalabudde dda nti enkuba nnamutikkwa yakweyongera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo mu biseera ebitali byewala, era nga byonna birina okwetegekera nga bukyali.
Mu kiseera kino ssabaminisita wa Uganda Robina Nabbanja, n’akulira oludda oluwabula government Mathius Mpuuga Nsamba, bagenze mu bitundu by’obuvanjuba bwa Uganda okwongera okwetegereza ebyakoseddwa amataba, n’okusalira awamu amagezi ku birina okukolebwa.
Emirambo egisoba mu 30 gyejakannyululwa mu mataba, so nga waliwo n’abantu abalala abatalabikako.
Ebyo nga biri bityo ABSA bank ewaddeyo okukadde bwa shilling 60 eri ekitongole kya Redcross,okudduukira embeera eno.
Bisakiddwa : Ddungu Davis