Nnaabakyala wa Bungereza Queen Elizabeth II aseeredde ku myaka 96 egy’obukulu.
Afiiridde mu lubiri lwe e Balmoral mu kitundu ekye Scotland.
Queen Elizabeth II yazaalibwa mu nga 21 April,1926, era nga yali ayitibwa Elizabeth Alexandra Mary.
Atudde ku Nnamulondo ya Bungereza okumala emyaka 70.
Kitaawe ye yali King George VI ng’ono okufuuka Kabaka kyava ku muganda we Edward VIII okulekulira.
Elizabeth II yeyali omwana omukulu, nga yatuula ku Nnamulondo ya Bungereza ku myaka 25 egy’obukulu.
Elizabeth agenda okufuuka Nnabakyala yali mu Kenya, gyeyali agenze okuwummulako n’okulambula, kitaawe n’afa era ng’omumbejja eyali alinze yafuukirawo Nnaabakyala w’engoma ya Bungereza.
Yoomu ku baazirwanako mu ssematalo owokubiri, bweyali tanafuuka Nnaabakyala.
Zabeti II abadde tafuga Bungereza yoka wabula na mawanga omuli Canada, New Zealand, Australia, Jamaica, Papua New Guinea, Grenada, Bahamas, Belize n’amalala.
Nnabakyala Elizabeth ye mukulembeze akyasinze okuwangaala ku Nnamulondo ya Bungereza, nga agikulemberedde emyaka 70.
Bba ye yali prince Phillip eyafa mu mwaka ogwayita 2021.
Abaana omukulu ye Mulangira Charles prince of wales era ngoono ye Kabaka agenda okulya engoma ya Bungereza.
Abaana abalala ye Mulangira Andrew duke of York n’omumbejja Ann princess Royal.
Abazzukulu abasinga obukulu ye Mulangira William Duke of Cambredge n’omulangira Harry Duke of Sussex.